Mufananidzo weYouVersion
Mucherechedzo Wekutsvaka

Olubereberye 7

7
1 # Lub 6:9, Mat 24:38,39, Luk 17:26,27, Beb 11:7, 1 Peet 3:20 Mukama n'agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino. 2#Leev 11:1-31Mu buli nsolo ennongoofu twala musanvu musanvu ensajja n'enkazi yaayo; era ne mu nsolo ezitali nongoofu bbiri, ensajja n'enkazi yaayo; 3era ne mu bibuuka waggulu, musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi: ezzadde liryoke libe eddamu ku nsi yonna. 4#Lub 6:17Kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nze nditonnyesa enkuba ku nsi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nange ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva mu ttaka. 5#Lub 6:22Nuuwa byonna n'abikola nga Katonda bwe yamulagira.
6Naye Nuuwa yali nga yaakamala emyaka lukaaga, amataba ag'amazzi bwe gaabeera ku nsi. 7Nuuwa n'ayingira n'abaana be ne mukazi we n'abakazi b'abaana be awamu naye mu lyato olw'amazzi g'amataba. 8Mu nsolo ennongoofu, ne mu nsolo ezitali nongoofu, ne mu bibuuka, ne mu buli ekyewalula ku nsi, 9bibiri bibiri ne biyingira eri Nuuwa mu lyato, ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yalagira Nuuwa. 10Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ennaku omusanvu ziri, amazzi ag'amataba ne gaba ku nsi. 11#Lub 8:2, Zab 78:23, Nge 8:28, Is 24:18, Mal 3:10Mu mwaka ogw'olukaaga ogw'obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi, ku lunaku olwo ne zizibukuka ensulo zonna, ez'omu nnyanja ennene, n'ebituli eby'omu ggulu ne bigguka. 12Enkuba n'etonnyera ku nsi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro. 13Ku lunaku olwo Nuuwa n'ayingira ne Seemu ne Kaamu ne Yafeesi, abaana ba Nuuwa, ne mukazi wa Nuuwa n'abakazi abasatu ab'abaana be awamu nabo, mu lyato; 14abo na buli nsolo mu ngeri yaayo, n'ente zonna mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo, na buli ekibuuka mu ngeri yaakyo, buli nnyonyi eya buli kiwaawaatiro. 15#Lub 6:20Ne biyingira eri Nuuwa mu lyato bibiri bibiri mu buli nnyama yonna erimu omukka ogw'obulamu. 16#Lub 7:2,3Ebyayingira ne biyingira ekisajja n'ekikazi mu buli nnyama, nga Katonda bwe yamulagira: Mukama n'amuggalira munda. 17Amataba ne gabeera ku nsi ennaku amakumi ana; amazzi ne geeyongera ne gasitula eryato, ne liwanikibwa waggulu w'ensi. 18Amazzi ne gafuga, ne geeyongera nnyo ku nsi; eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 19#Zab 104:6Amazzi ne gayinza nnyo ku nsi; ensozi zonna empanvu ne zisaanikirwa ezaali wansi w'eggulu lyonna. 20Emikono kkumi n'etaano okugenda waggulu amazzi bwe gaayinza; ensozi ne zisaanikirwa. 21#Lub 6:13,17, 2 Peet 3:6Buli nnyama etambula ku nsi n'efa, ekibuuka, n'ente, n'ensolo na buli ekyewalula ku nsi, na buli muntu yenna: 22#Lub 2:7byonna ebyalimu omukka ogw'omwoyo ogw'obulamu mu nnyindo zaabyo, mu byonna ebyali mu lukalu ne bifa. 23#2 Peet 2:5N'asangula buli kintu kiramu ekyali kungulu ku ttaka, omuntu, n'ente, n'ekyewalula, n'ekibuuka waggulu; ne bisangulibwa ku nsi: Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato. 24Amazzi ne gayinza ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

Zvasarudzwa nguva ino

Olubereberye 7: LUG68

Sarudza vhesi

Pakurirana nevamwe

Sarudza zvinyorwa izvi

None

Unoda kuti zviratidziro zvako zvichengetedzwe pamidziyo yako yose? Nyoresa kana kuti pinda