Logotip YouVersion
Search Icon

Amas 7

7
1Omukama n'agamba Nowa nti: “Yingira ekyombo ggwe n'ennyumba yo yonna; kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu zzadde lino. 2Mu nsolo zonna ennongoofu ggyamu musanvu musanvu, ensajja n'enkazi yaayo, ate mu nsolo ezitali nnongoofu bbiri bbiri, ensajja n'enkazi yaayo. 3Era ne ku binyonyi eby'omu bbanga, musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi okubikuuma nga biramu ku nsi yonna. 4Kubanga wanaayita ennaku musanvu ndyoke ntonnyese enkuba ku nsi okumala ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana; nzija kusaanyaawo ku nsi buli kyonna kye nakola.” 5Nowa n'akola byonna Omukama bye yali amulagidde. 6Nowa yali wa myaka lukaaga omujjuzi gw'amataba we gwabeererawo ku nsi.
7Nowa n'ayingira mu kyombo ne batabani be ne mukazi we ne bakaabatabani be nga bali naye, badduke omujjuzi. 8Ku bisolo ebirongoofu n'ebitali birongoofu ne ku binyonyi, ne ku buli kyewalula ku ttaka, 9bibiri bibiri ne biyingira eri Nowa mu kyombo, ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yali alagidde Nowa. 10Ennaku omusanvu bwe zaayitawo, amazzi g'omujjuzi ne gajja ku nsi.
11Mu mwaka ogw'olukaaga ogw'obulamu bwa Nowa mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi, ensulo zonna ez'eddubi ne zifumbukula, n'ebiyiriro by'eggulu ne bigguka; 12enkuba n'eyiika ku nsi ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana.
13Ku lunaku olwo lwennyini Nowa n'ayingira mu kyombo ne Seemu, Kaamu, ne Yafesi batabani be, ko mukazi we ne bakaabatabani be abasatu. 14Bo na buli nsolo ya ttale mu luse lwayo, na buli nsolo ya waka mu luse lwayo, na buli kyewalula ku ttaka mu luse lwakyo, ebinyonyi byonna buli kimu mu luse lwakyo, ebyo byonna ebibuuka, 15byayingira eri Nowa bibiri bibiri, okuva mu buli kitonde ekirina obulamu. 16Ebyayingira, byali ekisajja n'ekikazi okuva mu buli kitonde nga Katonda bwe yali amulagidde. Awo Katonda n'amuggaliramu.
Omujjuzi
17Omujjuzi gwali ku nsi okumala ennaku amakumi ana, amazzi ne geeyongera obungi ne gasitula ekyombo ne kisituka ku ttaka. 18Amazzi ne galinnya, ne geeyongera nnyo obungi ku nsi ekyombo ne kiseeyeeyera ku mazzi. 19Amazzi ne galinnya nnyo ku nsi: ensozi zonna empanvu wansi w'eggulu wonna ne zibikkibwa. 20Amazzi ne gatumbiira emikono kkumi n'etaano ku ntikko z'ensozi ze gaabikka. 21Ebiramu byonna ne bisaanawo ebitambulira ku nsi: ebinyonyi, ebisolo eby'awaka, n'ebisolo byonna eby'ettale n'ebitonde byonna ebibunye ku nsi, n'abantu bonna. 22Buli kiramu kyonna ekissiza mu nnyindo, byonna ebyali ku lukalu, byafa. 23Yasaanyawo buli kitonde ku nsi, okuva ku muntu okutuuka ku magana ne ku byewalula n'ebinyonyi eby'omu bbanga; n'abimalirawo ddala ku nsi. Naye Nowa ye yasigala, n'abaali naye mu kyombo. 24Amazzi ne gaalaala ku nsi okumala ennaku kikumi mu ataano.
Omujjuzi gukoma

Currently Selected:

Amas 7: BIBU1

Označeno

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in