ENTANDIKWA 8
8
Omujjuzo gw'amazzi gukoma
1Katonda n'ateerabira Noowa, n'ensolo, na buli kiramu ekyali ne Noowa mu lyato. Katonda n'akunsa embuyaga ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera. 2Ensulo ez'ennyanja, n'ebituli eby'eggulu, ne biggalira. Enkuba n'erekera awo okutonnya, 3amazzi ne gagenda nga gakendeera mpolampola, okumala ennaku kikumi mu ataano. 4Ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu mu mwezi ogw'omusanvu, eryato ne lituula ku nsozi z'omu Ararati. 5Amazzi ne geeyongera okukendeera. Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, entikko z'ensozi ne zirabika.
6Bwe waayitawo ennaku amakumi ana Noowa n'aggulawo eddirisa ly'eryato lye yakola. 7N'atuma nnamuŋŋoona n'agenda ng'abuuka mu bbanga nga bw'adda okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. 8Awo Noowa n'atuma ejjiba ne lifuluma, okulaba oba ng'amazzi gakendedde ku nsi. 9Naye kubanga amazzi gaali gakyajjudde wonna ku nsi, lyabulwa awakalu we lirinnya, ne likomawo ku lyato. Noowa n'afulumya omukono gwe n'alikwata n'aliyingiza mu lyato. 10N'alindako ennaku endala musanvu, n'addamu okutuma ejjiba wabweru. 11Ne likomawo olweggulo nga lirina akakoola akabisi ak'omuzayiti mu kamwa kaalyo. Noowa n'amanya nti amazzi gakendedde ku nsi. 12Olwo n'alinda ennaku endala musanvu, n'addamu okutumayo ejjiba nate. Ku mulundi ogwo ne litakomawo gy'ali.
13Noowa bwe yali nga wa myaka lukaaga mu gumu, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye, amazzi gaali nga gakalidde ku nsi. Noowa n'aggyako ekisaanikira ky'eryato, n'atunula ku buli ludda, n'alaba nga kungulu ku nsi kukalidde. 14Ku lunaku olw'amakumi abiri mu omusanvu olw'omwezi ogwokubiri, ensi yali ekalidde ddala.
15Katonda n'agamba Noowa nti: 16“Va mu lyato, awamu ne mukazi wo, n'abaana bo, era ne bakazi baabwe. 17Fuluma wamu n'ebiramu byonna ebya buli ngeri ebiri naawe, ebibuuka mu bbanga, n'ensolo, ne byonna ebyewalula ku nsi, bizaalenga byale, bibune ku nsi yonna.”
18Awo Noowa n'afuluma awamu ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi baabwe. 19Buli nsolo, na buli ekyewalula ku ttaka, na buli ekibuuka mu bbanga, ne bifuluma mu lyato, nga biri mu bika byabyo.
Noowa awaayo ekitambiro
20Noowa n'azimbira Mukama alutaari, n'alondayo emu emu ku nsolo ne ku nnyonyi ennongoofu, n'azookya ku alutaari nga za kitambiro. 21Akawoowo ak'ekitambiro ne kasanyusa Mukama, Mukama n'agamba munda ye nti: “Sikyaddamu kukolimira nsi olw'ebyo omuntu by'akola, kubanga ebirowoozo by'omuntu bibi okuviira ddala mu buto bwe. Sikyaddamu kuzikiriza biramu byonna nga bwe nkoze kaakano. 22Ensi ng'ekyaliwo, wanaabeerangawo okusiga n'okukungula, obunnyogovu n'ebbugumu, ekyeya n'obutiti, era n'emisana n'ekiro.”
Aktuálne označené:
ENTANDIKWA 8: LB03
Zvýraznenie
Zdieľať
Kopírovať
Chceš mať svoje zvýraznenia uložené vo všetkých zariadeniach? Zaregistruj sa alebo sa prihlás
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.