1
Olubereberye 17:1
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, MUKAMA n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
Compară
Explorează Olubereberye 17:1
2
Olubereberye 17:5
Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi.
Explorează Olubereberye 17:5
3
Olubereberye 17:7
Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe.
Explorează Olubereberye 17:7
4
Olubereberye 17:4
“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi.
Explorează Olubereberye 17:4
5
Olubereberye 17:19
Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.
Explorează Olubereberye 17:19
6
Olubereberye 17:8
Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”
Explorează Olubereberye 17:8
7
Olubereberye 17:17
Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?”
Explorează Olubereberye 17:17
8
Olubereberye 17:15
Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.
Explorează Olubereberye 17:15
9
Olubereberye 17:11
Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe.
Explorează Olubereberye 17:11
10
Olubereberye 17:21
Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”
Explorează Olubereberye 17:21
11
Olubereberye 17:12-13
Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga, oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo.
Explorează Olubereberye 17:12-13
Acasă
Biblia
Planuri
Videoclipuri