Amas 4
4
1Omusajja n'amanya Eva mukazi we; Eva n'afuna olubuto n'azaala Kayini, n'agamba nti: “Nfunye omusajja n'obuyambi bw'Omukama.” 2N'ayongera n'azaala Abeli muganda wa Kayini. Abeli yali mulunzi wa ndiga, Kayini ye nga mulimi. 3Nga wayiseewo ebbanga, Kayini n'aleeta ebimu ku bibala eby'omu ttaka okuweereza Omukama. 4Ne Abeli naye n'aleeta ku biggulanda eby'omu kisibo kye ne ku masavu gaabyo. Omukama n'asanyukira Abeli n'ekitone kye. 5Naye Omukama teyasanyukira Kayini n'ekitone kye. Kayini n'asunguwala nnyo, n'anakuwala. 6Omukama n'agamba Kayini nti: “Lwaki osunguwadde? Lwaki onakuwadde? 7Bw'onooba okoze bulungi toosiimibwe? Naye kati okoze bubi; ekibi kyebakiridde ku mulyango, kyegomba okukwezza, naye ggwe wandikifuze.” 8Olumu Kayini n'agamba Abeli muganda we nti: “Tugendeko mu nnimiro.”#4,8 “Tugendeko mu nnimiro” kiggyiddwa mu y'Oluger. Baali bali eyo mu nnimiro, Kayini n'agwira Abeli muganda we n'amutta.
9Omukama n'abuuza Kayini nti: “Abeli muganda wo ali ludda wa?” Ye n'ayanukula nti: “Simanyi. Nze nkuuma muganda wange?” 10Omukama n'amugamba nti: “Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gulaajanidde gye ndi nga guyima mu ttaka. 11Kale nno ovumiriddwa, ogobeddwa ku ttaka eryayasamye ne limira omusaayi gwa muganda wo nga liguggya mu mikono gyo. 12Bw'onoolimanga, ettaka teriikubalizenga bibala byalyo; ku nsi onoobanga mubungeese.” 13Kayini n'agamba Omukama nti: “Ekibonerezo kyange kinene, kimpitiridde. 14Wuuno olwa leero ongobye ku ttaka, nzija kukisibwa amaaso go, era ne mu nsi nnaabanga mubungeese era emmomboze. Buli alinsanga, alitta bussi.” 15Omukama n'amugamba nti: “Si bwe kijja okuba n'akatono; wabula, buli yenna alitta Kayini, aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Omukama n'assa akabonero ku Kayini, buli yenna amusanga, aleme kumutta. 16Kayini n'ava mu maaso ga Katonda, n'asenga mu nsi Nodi ebuvanjuba wa Edeni.
Ezzadde lya Kayini
17Kayini yamanya mukazi we, n'abeera olubuto, n'azaala Enoki. Yali azimba ekibuga, kwe kukituuma erinnya lya mutabani we Enoki. 18Enoki yazaala Yiradi ne Yiradi n'azaala Mekuyeeli, ne Mekuyeeli n'azaala Metusayeli ne Metusayeli n'azaala Lameki. 19Lameki n'awasa abakazi babiri: erinnya ly'asooka ye Ada, n'ery'omulala ye Zilla. 20Ada yazaala Yabali: ye kitaabwe w'abo abasula mu weema era abalunzi. 21Erinnya lya muganda we ye Yubali: ye kitaawe wa bonna abayimba ku nnanga n'abafuuwa endere. 22Ne Zilla n'azaala Tubali Kayini eyali omuweesi w'ebikozesebwa byonna eby'ekikomo n'ekyuma. Mwannyina Tubali Kayini nga ye Naama.
23Lameki n'agamba bakazi be nti:
“Ada ne Zilla, muwulire eddoboozi lyange,
bakazi ba Lameki, muwulirize ebigambo byange:
Natta omusajja olw'ekiwundu kye yanteekako,
omuvubuka olw'obuvune bwe yanzisaako.
24 #
Mat 18,22; Luk 17,24. Oba ku Kayini okuwoolera eggwanga kwa mirundi musanvu
ku Lameki kwa nsanvu emirundi musanvu.”
Adamu azaala Seti
25Adamu#4,25 Ey'Olweb. etandikira wano omuntu okumuyita Adamu, mpozzi ne mu 2,20. n'addamu n'amanya mukazi we, n'azaala omwana mulenzi; yamutuuma Seti, ng'agamba nti: “Katonda anteereddewo ezzadde eddala mu kifo kya Abeli; kubanga Kayini yamutta.” 26Ne Seti n'afuna omwana wa bulenzi, n'amutuuma Enosi. Mu bbanga eryo abantu we baatandikira okukoowoola erinnya ly'Omukama.
Bajjajja abaakulembera omujjuzi
Currently Selected:
Amas 4: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.