Amas 11
11
1Ensi yonna yalina olulimi lumu n'ebigambo nga bye bimu. 2Bwe baali bava ebuvanjuba, ne basanga omuseetwe mu nsi y'e Sinari, ne basenga omwo. 3Ne bagambagana nti: “Abange, mugire tubumbe amataffaali tugookye n'omuliro.” Mu kifo ky'amayinja baddira mataffaali, ate mu kifo ky'obudongo beeyamba bbumba. 4Ne bagamba nti: “Abange, mujje twezimbire ekibuga n'omunaala entikko yaagwo ng'ekwata ku ggulu, twekolere tutyo erinnya tuleme kusaasaana mu nsi yonna.”
5Awo Omukama n'aserengeta alabe ekibuga n'omunaala batabani b'abantu bye baali bazimba. 6Omukama n'agamba nti: “Baabano bakyali ggwanga limu n'olulimi balina lumu; eno ekyali ntandikwa yokka ey'ebyo bye banaakola; oluvannyuma tebajja kuzibuwalirwa kukola kyonna kye baliba baagadde. 7Abange, mujje tuserengeteyo olulimi lwabwe tulutabuletabule, buli omu aleme kutegeera lulimi lwa munne.” 8Okuva awo Omukama n'abasaasaanya ku nsi yonna, ne balekera awo okuzimba ekibuga. 9Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Babeli, kubanga awo Omukama we yatabulatabulira olulimi lw'ensi yonna. Wano Omukama we yabasaasaanyiza ku nsi yonna.
Amazadde ga Seemu okutuuka ku Aburaamu
10 #
1 Ebyaf 1,17-27. Gano ge mazadde ga Seemu: Seemu yali aweza emyaka kikumi n'azaala Arupakusadi nga waakayita emyaka ebiri okuva ku mujjuzi. 11Seemu bwe yamala okuzaala Arupakusadi, yawangaalayo emyaka ebikumi bitaano; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
12Arupakusadi yali aweza emyaka asatu mu etaano n'azaala Sela. 13Arupakusadi bwe yamala okuzaala Sela, yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bina mu esatu; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14Sela yali aweza emyaka asatu n'azaala Eberi. 15Sela bwe yamala okuzaala Eberi yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bina mu esatu; yaazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
16Eberi yali aweza emyaka amakumi asatu mu ena n'azaala Pelegi. 17Eberi bwe yamala okuzaala Pelegi yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bina mu asatu; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
18Pelegi yali aweza emyaka amakumi asatu n'azaala Rewu. 19Pelegi bwe yamala okuzaala Rewu, yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20Rewu yali aweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n'azaala Serugi. 21Rewu bwe yamala okuzaala Serugi yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
22Serugi yali aweza emyaka amakumi asatu n'azaala Nakori. 23Serugi bwe yamala okuzaala Nakori yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bibiri; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
24Nakori yali aweza emyaka abiri mu mwenda n'azaala Tera. 25Nakori bwe yamala okuzaala Tera yawangaalayo emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
26Tera yali aweza emyaka nsanvu n'azaala Aburaamu, Nakori ne Arani.
Amazadde ga Tera
27Gano ge mazadde ga Tera: Tera yazaala Aburaamu, Nakori ne Arani. Ye Arani yazaala Loti; 28Arani ye yasooka kitaawe Tera okufa. Yafiira mu nsi y'obuzaale bwabwe mu Wuru eky'Abakaludeya. 29Aburaamu ne Nakori baawasa abakazi; muka Aburaamu nga ye Sarayi, ate muka Nakori nga ye Miluka, muwala wa Arani. Arani ye yali kitaabwe wa Miluka ne Yisuka. 30Naye Sarayi yali mugumba, teyalina mwana. 31Tera n'addira Aburaamu mutabani we ne muzukkulu we Loti mutabani wa Arani, ne Sarayi muka mutabani we Aburaamu, ne bava bonna mu Wuru eky'Abakaludeya, bajje mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka e Karani, ne basenga eyo. 32Tera eyo n'awerezaayo emyaka ebikumi bibiri mu etaano n'afiira mu Karani.
II. EBIFAAYO BYA ABURAAMU
Okuyitibwa kwa Aburaamu
Currently Selected:
Amas 11: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.