Olubereberye 4

4
1Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama. 2Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka. 3#Kuv 23:19Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta ebibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda. 4#Kuv 13:12; 34:19,20, Kubal 18:17, Beb 11:4Abiri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye n'amasavu gaazo. Mukama n'akkiriza Abiri ne ky'awaddeyo: 5#Nge 21:27naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka. 6Mukama n'agamba Kayini nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go? 7#Mub 8:12,13, Is 3:10,11Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoomufuganga. 8#Mat 23:35, 1 Yok 3:12, Yud 11Kayini n'ayogera ne Abiri muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta. 9#Yok 8:44Mukama n'agamba Kayini nti Aluwa Abiri muganda wo? N'ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange? 10#Beb 12:24N'ayogera nti Okoze ki? eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi. 11#Kubal 35:33, Ma 27:24Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo; 12bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze. 13Kayini n'agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange tekuyinzika kugumiikirizibwa. 14#Lub 9:6, 2 Bassek 24:20, Zab 51:11Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era naabanga momboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita. 15#Ez 9:4,6Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta.
16 # 2 Bassek 13:23, Yer 23:39 Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni. 17Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we. 18Ne Enoka n'azaala Iradi: Iradi n'azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri: Mesusaeri n'azaala Lameka. 19Lameka n'awasa abakazi babiri; ow'olubereberye erinnya lye Ada, n'ow'okubiri erinnya lye Zira. 20Ada n'azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w'abo abatuula mu weema nga balunda. 21N'erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w'abo abakuba ennanga n'omulere. 22Nate Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. 23Lameka n'agamba bakazi be nti
Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange:
Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange:
Kubanga natta omusajja kubanga yanfumita nze,
Era omuvubuka kubanga yambetenta nze:
24Obanga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu,
Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.
25Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta. 26Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erinnya lya Mukama.

Nu geselecteerd:

Olubereberye 4: LUG68

Markering

Deel

Kopiëren

None

Wil je jouw markerkingen op al je apparaten opslaan? Meld je aan of log in

YouVersion gebruikt cookies om je ervaring te personaliseren. Door onze website te gebruiken ga je akkoord met ons gebruik van cookies zoals beschreven in ons Privacybeleid