1
Olubereberye 22:14
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa MUKAMA anaagabiriranga.
Bandingkan
Selidiki Olubereberye 22:14
2
Olubereberye 22:2
Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.”
Selidiki Olubereberye 22:2
3
Olubereberye 22:12
“Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.”
Selidiki Olubereberye 22:12
4
Olubereberye 22:8
Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.
Selidiki Olubereberye 22:8
5
Olubereberye 22:17-18
ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe, era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”
Selidiki Olubereberye 22:17-18
6
Olubereberye 22:1
Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, “Ibulayimu!” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
Selidiki Olubereberye 22:1
7
Olubereberye 22:11
Naye malayika wa MUKAMA n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!” Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti
Selidiki Olubereberye 22:11
8
Olubereberye 22:15-16
Awo malayika wa MUKAMA n’ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng’asinziira mu ggulu, n’amugamba nti, “Nze MUKAMA neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati
Selidiki Olubereberye 22:15-16
9
Olubereberye 22:9
Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu n’azimba ekyoto, n’atindikira enku, n’asiba omwana we Isaaka, n’amuteeka ku kyoto ku nku.
Selidiki Olubereberye 22:9
Halaman Utama
Alkitab
Pelan
Video