Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”