1
ENTANDIKWA 13:15
Luganda DC Bible 2003
Ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo ensi eyo yonna gy'olaba, ebe yiyo emirembe gyonna.
Mampitaha
Mikaroka ENTANDIKWA 13:15
2
ENTANDIKWA 13:14
Looti bwe yamala okwawukana ne Aburaamu, Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Weebunguluze amaaso go, otunule ku buli ludda ng'osinziira mu kifo mw'oli.
Mikaroka ENTANDIKWA 13:14
3
ENTANDIKWA 13:16
Ndikuwa abazzukulu bangi ng'enfuufu eri ku nsi, era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, ne bazzukulu bo bwe baliyinza okubalibwa.
Mikaroka ENTANDIKWA 13:16
4
ENTANDIKWA 13:8
Awo Aburaamu n'agamba Looti nti: “Waleme kubaawo nkaayana wakati wo nange, wadde wakati w'abasumba bo n'abange, kubanga tuli baaluganda.
Mikaroka ENTANDIKWA 13:8
5
ENTANDIKWA 13:18
Aburaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'abeera mu Heburooni, okumpi n'emivule gya Mamure. N'azimbira eyo Mukama alutaari.
Mikaroka ENTANDIKWA 13:18
6
ENTANDIKWA 13:10
Looti ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yorudaani lwonna, okutuukira ddala e Zowari, nga lulimu amazzi mangi, nga luli ng'ennimiro ya Mukama oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.
Mikaroka ENTANDIKWA 13:10
Fidirana
Baiboly
Planina
Horonan-tsary