ENTANDIKWA 7
7
Omujjuzo gw'amazzi
1Mukama n'agamba Noowa nti: “Yingira mu lyato n'ab'omu nnyumba yo bonna, kubanga ndabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange, mu mulembe guno. 2Ku buli nsolo nnongoofu, twalako musanvu musanvu: ensajja n'enkazi. Naye ku zitali nnongoofu, twalako bbiri, ensajja n'enkazi. 3Era ne ku bibuuka mu bbanga, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi, buli kika kyabyo kiryoke kireme kuzikirira ku nsi, 4kubanga nga wayise ennaku musanvu, nja kutonnyesa enkuba, etonnyere ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, ezikirize ku nsi ebiramu byonna bye nakola.” 5Noowa n'akola byonna Mukama bye yamulagira.
6Noowa yali aweza emyaka lukaaga egy'obukulu, omujjuzo gw'amazzi we gwajjira ku nsi. 7N'ayingira mu lyato ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi b'abaana be, okuwona omujjuzo gw'amazzi.#Laba ne Mat 24:38-39; Luk 17:27 8Ku buli kika kya nsolo ennongoofu n'ezitali nnongoofu, ne ku buli kika ky'ebibuuka mu bbanga, n'eky'ebyewalula ku ttaka, 9ne kubaako ebiyingira ne Noowa mu lyato bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, nga Katonda bwe yalagira Noowa. 10Bwe waayitawo ennaku musanvu, omujjuzo gw'amazzi ne gujja ku nsi.
11Mu mwaka ogw'olukaaga ogw'obulamu bwa Noowa, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu, mu mwezi ogwokubiri, ensulo zonna ez'omu guyanja, ne zizibukuka, n'ebituli byonna eby'oku ggulu ne bigguka.#Laba ne 2 Peet 3:6 12Enkuba n'etandika okutonnya ku nsi, okumala ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro. 13Ku lunaku olwo lwennyini, Noowa ne mukazi we ne bayingira mu lyato, wamu ne batabani baabwe Seemu, ne Haamu, ne Yafeeti, ne bakazi baabwe. 14Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu ttale, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato. 15Ebyayingira ne Noowa mu lyato, byali ekisajja n'ekikazi ku buli kika ky'ebiramu, 16nga Katonda bwe yamulagira. Awo Mukama n'amuggalira munda.
17Omujjuzo gw'amazzi ne gubeera ku nsi ennaku amakumi ana, amazzi ne geeyongera obungi, ne gasitula eryato, ne galiggya ku ttaka. 18Amazzi ne geeyongera nnyo obungi, ne gajjuza wonna, eryato ne liseeyeeya kungulu ku go. 19Amazzi ne gasituka nnyo, ne gabuutikira ensozi ezisingira ddala obugulumivu, 20entikko z'ensozi ne zisigala mita musanvu wansi w'amazzi. 21Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu ttale n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa. 22Buli kintu ku nsi ekissa omukka, ne kifa. 23Mukama n'azikiriza ebiramu byonna ku nsi: abantu n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Noowa n'asigalawo yekka, n'abo abaali naye mu lyato. 24Amazzi ne gatakendeera okumala ennaku kikumi mu ataano.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 7: LB03
Tya elembo
Share
Copy
Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.