Logo ya YouVersion
Elilingi ya Boluki

Lukka 24

24
1 # Mak 16:1-8, Yok 20:1-13 Awo ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu, mu matulutulu enkya, ne bajja ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategeka. 2Ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa okuva ku ntaana. 3Ne bayingiramu, ne batasanga mulambo gwa Mukama waffe Yesu. 4Awo olwatuuka bwe baali basamaaliridde olw'ekyo, laba, abantu babiri ne bayimirira we baali, nga bambadde engoye ezimasamasa; 5awo bwe baali batidde, nga bakutamye amaaso gaabwe, ne babagamba nti Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu? 6Taliiwo wano, naye azuukidde: mujjukire bwe yayogera nammwe ng'akyali mu Ggaliraaya, 7#Mat 17:22,23ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibi, n'okukomererwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukira. 8Awo ne bajjukira ebigambo bye, 9ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n'omu, n'abalala bonna. 10#Luk 8:2,3Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala wamu nabo ne babuulira abatume ebigambo ebyo. 11Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maaso gaabwe nga bya busirusiru; ne batakkiriza. 12Naye Peetero n'agolokoka n'adduka ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo.
13 # Mak 16:12,13 Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga. 14Ne banyumya bokka na bokka ebyo byonna ebibaddewo. 15#Mat 18:20Awo olwatuuka baali nga banyumya nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n'abasemberera, n'agenda wamu nabo. 16Naye amaaso gaabwe ne gazibwa baleme okumutegeera. 17N'abagamba nti Bigambo ki bye mubuuzaganya nga mutambula? Ne bayimirira nga bawootedde. 18Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino? 19#Mat 21:11N'abagamba nti Bigambo ki? Ne bamugamba nti Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakoleranga ne bye yayogereranga mu maaso ga Katonda ne mu g'abantu bonna: 20ne bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okumusalira omusango ogw'okumutta, ne bamukomerera. 21#Luk 1:68; 2:38; 19:11, Bik 1:6Naye ffe twali tusuubira nti ye alinunula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo. 22#Luk 24:1-11Era n'abakazi abamu ab'ewaffe batuwuniikirizza, abaakedde okugenda ku ntaana; 23bwe bataasanze mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti balabye okwolesebwa kwa bamalayika abagambye nti mulamu. 24#Luk 24:12, Yok 20:3-10N'abamu ku abo abaabadde naffe bagenze ku ntaana, ne basanga bwe batyo ng'abakazi bwe bagambye, naye ne batamulaba. 25Kale ye n'abagamba nti Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga; 26tekyagwanira Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo, alyoke ayingire mu kitiibwa kye? 27#Ma 18:15, Zab 22:1-21, Is 53:1-12N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikirwa ye. 28Ne basembera kumpi n'embuga gye baali bagenda: ye n'aba ng'abayisa okugenda mu maaso. 29Ne bamuwaliriza nga bagamba nti Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano. N'ayingira okutuula nabo. 30#Luk 22:19Awo olwatuuka yali atudde nabo ku mmere, n'atoola omugaati n'agwebaza, n'agumenyamu n'abawa. 31Amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; n'abulirawo bo obutamulaba. 32Ne beebuuzaganya nti Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa? 33Ne bayimuka mu kiseera ekyo ne bakomawo e Yerusaalemi, ne basanga bali ekkumi n'omu, n'abo be baali nabo, nga bakuŋŋaanye 34nga bagamba nti Mazima Mukama waffe azuukidde era alabikidde Simooni. 35#1 Kol 15:4,5Nabo ne babannyonnyola biri eby'omu kkubo, ne bwe yategeerekese gye bali olw'okumenyamu omugaati.
36 # Mak 16:14-18, Yok 20:19-23, 1 Kol 15:5 Awo baali nga bakyayogera ebyo, ye yennyini n'ayimirira wakati waabwe, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe. 37#Mat 14:26Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu. 38N'abagamba nti Ekibeeraliikiriza kiki? N'okubuusabuusa kujjira ki mu mitima gyammwe? 39Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo. 40Bwe yamala okwogera ekyo, n'abalaga engalo ze n'ebigere. 41#Yok 21:5,10Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti Mulina ekiriibwa wano? 42Ne bamuwa ekitundu eky'ekyennyanja ekyokye. 43N'akitoola n'akiriira mu maaso gaabwe.
44 # Luk 9:22,45; 18:31-33 N'abagamba nti Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikirwa nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli. 45N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa; 46#1 Tim 3:16n'abagamba nti Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olw'okusatu; 47era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggibwako ebibi mu linnya lye, okusookera ku Yerusaalemi. 48Mmwe bajulirwa b'ebyo. 49#Yok 15:26; 16:7, Bik 1:4Era laba, mbaweereza mmwe okusuubiza kwa Kitange: naye mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava waggulu.
50 # Mak 16:19, Bik 1:4-14 N'abatwala ebweru n'abatuusa e Bessaniya: n'ayimusa emikono gye n'abawa omukisa. 51Awo olwatuuka ng'akyabawa omukisa, n'abaawukanako, n'atwalibwa mu ggulu. 52#Yok 16:22; 14:28Nabo ne bamusinza, ne bakomawo e Yerusaalemi n'essanyu lingi: 53ne babeeranga mu yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda.

Currently Selected:

Lukka 24: LUG68

Tya elembo

Share

Copy

None

Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo