Logo ya YouVersion
Elilingi ya Boluki

Lukka 19

19
1N'ayingira mu Yeriko n'aba ng'agiyitamu. 2Kale, laba, waaliwo omuntu eyali ayitibwa erinnya lye Zaakayo, naye yali mukulu w'abawooza, era nga mugagga. 3N'asala amagezi okulaba Yesu bw'ali; n'atayinza olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yali mumpi. 4N'adduka n'akulembera, n'alinnya ku muti omusukomooli amulabe: kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo. 5Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo. 6N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka. 7#Luk 15:2Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza bonna, nga bagamba nti Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi. 8#Kuv 22:1, Kubal 5:6,7Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti Laba, Mukama wange, ekitundu ky'ebintu byange mbawa abaavu; oba nga nnalyazaamaanya omuntu yenna ekintu kye, mmuliyira emirundi ena. 9#Luk 13:16, Bik 3:25; 16:31Yesu n'amugamba nti Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu. 10#Ez 34:16, Yok 3:17, Luk 5:32, 1 Tim 1:15Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.
11 # Luk 24:21, Bik 1:6 Awo bwe baawulira ebyo ne yeeyongera n'agera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangu ago. 12#Mak 13:34Kyeyava agamba nti Waaliwo omuntu omukulu eyagenda mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka alyoke akomewo. 13N'ayita abaddu be kkumi, n'abawa shillings ebikumi bibiri, n'abagamba nti Musuubuzenga okutuusa we ndijjira. 14#Yok 1:11Naye basajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka ennyuma we, nga bagamba nti Tetwagala oyo kutufuga. 15Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, n'alagira okuyita abaddu abo be yawa effeeza, alyoke amanye amagoba ge baasuubula. 16Ow'olubereberye n'ajja n'agamba nti Mukama wange, shillings zo amakumi abiri gaagobamu shillings bibiri. 17#Luk 16:10N'amugamba nti Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale ba n'obuyinza ku bibuga kkumi. 18N'ajja ow'okubiri ng'agamba nti Mukama wange, shillings zo abiri zaagobamu shillings kikumi. 19N'oyo n'amugamba nti Naawe ba ku bibuga bitaano. 20N'omulala n'ajja n'agamba nti Mukama wange, laba, shillings zo zino abiri nnazitereka nga zisibiddwa mu kiwero: 21Kubanga nnakutya kubanga oli muntu mukakanyavu: olonda ky'otaateekawo, okungula ky'otaasiga. 22N'amugamba nti Akamwa ko kanaakunsaliza omusango, ggwe omuddu omubi. Wali omanyi nga nze ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga; 23kale kiki ekyakulobera okuwa shillings zange abasuubuzi, nange bwe nnandizze nnandizitutte n'amagoba gaazo? 24N'agamba abaali bayimiridde awo nti Mumuggyeeko shillings ze, muziwe oyo alina shillings ebikumi ebibiri. 25Ne bamugamba nti Mukama waffe, alina shillings ebikumi bibiri. 26#Luk 8:18, Mat 13:12Mbagamba nti Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo ky'ali nakyo kirimuggibwako. 27Naye abo abalabe bange abatayagala nze kubafuga, mubaleete wano mubattire mu maaso gange. 28Awo bwe yamala okwogera ebyo, n'akulembera n'alinnya e Yerusaalemi.
29 # Mat 21:1-9, Mak 11:1-10, Yok 12:12-16 Awo olwatuuka bwe yali ng'anaatera okutuuka e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, 30ng'agamba nti Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete. 31Era omuntu bw'ababuuza nti Mugusumululira ki? mugambe bwe mutyo nti Mukama waffe ye agwetaaga. 32N'abo abaatumibwa ne bagenda, ne balaba nga bw'abagambye. 33Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi, bannannyini gwo ne babagamba nti Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo? 34Ne bagamba nti Mukama waffe ye agwetaaga. 35Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliira engoye zaabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagazaako Yesu. 36#2 Bassek 9:13Awo yali ng'agenda ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo. 37Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batanula okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba; 38#Zab 118:26, Luk 2:14nga bagamba nti Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ennyo. 39Abafalisaayo abamu ab'omu kibiina ne bamugamba nti Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo. 40N'addamu n'abagamba nti Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja ganaayogerera waggulu.
41 # 2 Bassek 8:11, Yok 11:35 Awo bwe yasembera okumpi, n'alaba ekibuga n'akikaabira, 42#Ma 32:29, Mat 13:14, Yok 12:38ng'agamba nti Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go. 43Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna, 44#Luk 21:6, Zab 137:9balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.
45 # Mat 21:12-16, Mat 11:15-18, Yok 2:13-16 N'ayingira mu yeekaalu, n'asooka okugobamu abaali batunda 46#Is 56:7, Yer 7:11ng'abagamba nti Kyawandiikibwa nti Era ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.
47 # Luk 21:37; 22:53, Yok 18:20 Awo n'ayigirizanga mu yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza: 48ne batalaba kye banaakola; kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwulira.

Currently Selected:

Lukka 19: LUG68

Tya elembo

Share

Copy

None

Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo