Yokaana 2
2
1 #
Yok 1:43
Olunaku olw'okusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo; 2Yesu ne bamuyita n'abayigirizwa be ku mbaga. 3Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti Tebalina nvinnyo. 4#Yok 19:26, Mat 12:48, Mak 1:24Yesu n'amugamba nti Omukyala, Onvunaana ki? ekiseera kyange tekinnaba kutuuka. 5Nnyina n'agamba abaweereza nti Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola. 6#Mak 7:3,4Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukuza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu. 7Yesu n'abagamba nti Amasuwa mugajjuze amazzi. Ne bagajjuza okutuusa ku migo. 8N'abagamba nti Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga. Ne bamutwalira. 9Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole, 10n'amugamba nti Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano. 11#Yok 1:14; 11:40Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12 #
Yok 7:3, Mat 4:13 Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be: ne bamalayo ennaku si nnyingi.
13Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi. 14#Mat 21:12,13, Mak 11:15-17, Luk 19:45,46N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde: 15n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe; 16#Luk 2:49n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi. 17#Zab 69:9Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya. 18#Mat 21:23, Yok 3:2Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Kabonero ki k'otwolesa akakukoza bino? 19#Mat 26:61; 27:40Yesu n'addamu n'abagamba nti Mumenye yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu. 20Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu? 21#1 Kol 6:19Naye yayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe. 22Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera.
23Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe bwe yakola. 24Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna, 25#Mak 2:8era teyeetaaga muntu yenna okutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.
Currently Selected:
Yokaana 2: LUG68
Tya elembo
Share
Copy
Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.