Olubereberye 3
3
1 #
Mat 10:16, Kub 12:9; 20:2 N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku? 2Omukazi n'agamba omusota nti Ebibala by'emiti egy'omu lusuku tulya; 3#Lub 2:17wabula ebibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatangako muleme okufa. 4#2 Kol 11:3Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa. 5Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi. 6#Kos 6:7, Bar 5:12, 1 Tim 2:14Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya. 7Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g'emiti ne beekolera ebyokwambala. 8#Yob 31:33, Zab 139:1-12, Yer 23:23,24Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'empewo: omusajja ne mukazi we ne beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy'omu lusuku. 9Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba nti Oli luuyi wa? 10#Yob 23:1N'ayogera nti Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, n'entya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka. 11N'ayogera nti Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako? 12#Nge 28:13Omusajja n'ayogera nti Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku muti, ne ndya. 13Mukama Katonda n'agamba omukazi nti Kiki kino ky'okoze? Omukazi n'ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne ndya. 14#Is 65:25, Mi 7:17Mukama Katonda n'agamba omusota nti Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez'omu nnyumba zonna, n'okusinga buli nsolo ey'omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyanga enfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo: 15#Is 7:14, Mat 1:23,25, Luk 1:34,35, Bar 16:20, Bag 4:4, Kub 20:1-3nange obulabe n'abuteekanga wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi: (ezzadde ly'omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro. 16#Yok 16:21, 1 Kol 11:3, Bef 5:22-24, Tit 2:5N'agamba omukazi nti Okwongera naakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga. 17#Lub 5:29, Mub 2:22,23, Bar 8:20-22N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez'obulamu bwo; 18amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro. 19#Lub 2:7, Yob 34:15Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda. 20Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu. 21Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza.
22 #
Lub 2:9; 3:5 Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe; 23Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa. 24#Lub 2:8, Zab 104:4, Beb 1:7Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu.
Currently Selected:
Olubereberye 3: LUG68
Tya elembo
Share
Copy
Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.