1
Yokaana 10:10
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi.
Kokisana
Luka Yokaana 10:10
2
Yokaana 10:11
Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
Luka Yokaana 10:11
3
Yokaana 10:27
Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera
Luka Yokaana 10:27
4
Yokaana 10:28
nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange.
Luka Yokaana 10:28
5
Yokaana 10:9
Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro.
Luka Yokaana 10:9
6
Yokaana 10:14
Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera
Luka Yokaana 10:14
7
Yokaana 10:29-30
Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. Nze ne Kitange tuli omu.
Luka Yokaana 10:29-30
8
Yokaana 10:15
nga Kitange bw'antegeera, nange bwe ntegeera Kitange; nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga.
Luka Yokaana 10:15
9
Yokaana 10:18
Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange.
Luka Yokaana 10:18
10
Yokaana 10:7
Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga.
Luka Yokaana 10:7
11
Yokaana 10:12
Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.
Luka Yokaana 10:12
12
Yokaana 10:1
Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi.
Luka Yokaana 10:1
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo