1
Olubereberye 3:6
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne bba naye n'alya.
비교
Olubereberye 3:6 살펴보기
2
Olubereberye 3:1
N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, Mukama Katonda ze yakola. Ne gugamba omukazi nti, “Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti, ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?’”
Olubereberye 3:1 살펴보기
3
Olubereberye 3:15
nange n'ateeka obulabe wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi; alikubetenta omutwe gwo, naawe olibetenta ekisinziiro kye.”
Olubereberye 3:15 살펴보기
4
Olubereberye 3:16
N'agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo obulumi bwo mu kuzaala abaana; mu bulumi mwonoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri balo, naye anaakufuganga.”
Olubereberye 3:16 살펴보기
5
Olubereberye 3:19
Mu ntuuyo ez'omu maaso go mwonooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggyibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.”
Olubereberye 3:19 살펴보기
6
Olubereberye 3:17
N'agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti, ‘Togulyangako,’ ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga eby'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo
Olubereberye 3:17 살펴보기
7
Olubereberye 3:11
N'amubuuza nti, “Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?”
Olubereberye 3:11 살펴보기
8
Olubereberye 3:24
Bw'atyo n'agoba omuntu; n'ateeka bakerubi ebuvanjuba w'olusuku Edeni, era n'ekitala ekimyansa, ekikyukakyuka, okukuumanga ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
Olubereberye 3:24 살펴보기
9
Olubereberye 3:20
Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
Olubereberye 3:20 살펴보기
홈
성경
묵상
동영상