Lukka 23

23
1 # Mat 27:2,11-31, Mak 15:1-20, Yok 18:28; 19:16 Ekibiina kyonna ne kigolokoka, ne kimutwala ewa Piraato. 2#Luk 20:25Ne basooka okumuloopa nga bagamba nti Ono twamulaba ng'akyamya eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, ng'ayogera yennyini okuba Kristo, kabaka. 3#1 Tim 6:13Piraato n'amubuuza ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? N'amuddamu n'agamba nti Oyogedde. 4Piraato n'agamba bakabona abakulu n'ebibiina nti Siraba nsonga yonna ku muntu ono. 5Naye bo ne beeyongera okutayirira nga bagamba nti Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano. 6Naye Piraato bwe yawulira, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya. 7#Luk 3:1Bwe yategeera nga wa mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga naye yali mu Yerusaalemi mu nnaku ezo.
8 # Luk 9:9 Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo: kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero. 9N'amubuuliriza ebigambo bingi, naye ye n'atamuddamu kigambo. 10Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira ne banyweza nnyo okumuloopa. 11Awo Kerode ne basserikale ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12Kerode ne Piraato ne balyoka batabagana ku lunaku olwo; kubanga olubereberye baali bakyawaganye.
13Piraato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'abantu, 14n'abagamba nti Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo bye mumuloopye; 15era, newakubadde Kerode, kubanga amuzzizza gye tuli, era, laba, tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussisa: 16kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta. 17[Era kyamugwaniranga okubateeranga omusibe omu ku mbaga.] 18Naye ne bakaayana bonna wamu, nga bagamba nti Twala ono, otuteere Balaba: 19ye muntu gwe bassa mu kkomera olw'obujeemu obwali mu kibuga, n'olw'obussi. 20Piraato n'ayogera nabo nate, ng'ayagala okuta Yesu; 21naye bo ne boogerera waggulu nga bagamba nti Mukomerere, mukomerere. 22N'abagamba omulundi ogw'okusatu nti Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta. 23Naye bo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola. 24Piraato n'asalawo ebigambo bye beegayiridde. 25N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde.
26 # Mat 27:32, Mak 15:21 Awo baali nga bamutwala, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka omusalaba, okugwetikka ng'ava ennyuma Yesu.
27Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abaamukaabira, ne bamulirira. 28Naye Yesu n'abakyukira n'agamba nti Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe. 29#Luk 21:23Kubanga, laba, ennaku zijja, mwe baligambira nti Balina omukisa abagumba, n'embuto ezitazaala n'amabeere agatayonsa. 30#Kos 10:8, Kub 6:16; 9:6Ne balyoka batanula okugamba ensozi nti Mutugweko; n'obusozi nti Mutuvuunikire. 31#1 Peet 4:17Kubanga bwe bakola bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?
32Era yatwalibwa n'abalala babiri, abaakola obubi, okuttirwa awamu naye.
33 # Mat 27:33-56, Mak 15:22-41, Yok 19:17-30 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomerera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. 34#Mat 5:44, Is 53:12, Zab 22:18Awo Yesu n'agamba nti Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola. Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu. 35#Zab 22:7Abantu ne bayimirira nga batunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti Yalokolanga balala; yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we. 36#Zab 69:21Basserikale nabo ne bamuduulira nga bajja w'ali, nga bamuwa omwenge omukaatuufu, 37nga bagamba nti Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wekka. 38Ne wabaawo n'ebbaluwa waggulu we nti ONO YE KABAKA W'ABAYUDAAYA.
39Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa n'amuvuma ng'agamba nti Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe. 40Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n'agamba nti N'okutya totya Katonda, kubanga oli ku kibonerezo kye kimu naye? 41Era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisaanidde bye twakola bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo ekitasaana. 42#Mat 16:28N'agamba nti Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu bwakabaka bwo. 43Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.
44 # Am 8:9 Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa essaawa mwenda, 45#Kuv 36:35, Am 9:1enjuba obutayaka: n'eggigi ery'omu yeekaalu ne liyulikamu wakati. 46#Zab 31:5, Bik 7:59Awo Yesu n'ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu. 47Awo omwami w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo n'atendereza Katonda, ng'agamba nti Mazima ono abadde muntu mutuukirivu. 48N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo nga beekuba mu bifuba. 49#Zab 38:11; 88:8, Luk 8:2Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.
50 # Mat 27:57-61, Mak 15:42-47, Yok 19:38-42 Kale laba, omuntu erinnya lye Yusufu, eyali omukungu, omuntu omulungi era omutuukirivu 51#Luk 2:25,38oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, ow'e Alimasaya, ekibuga ky'Abayudaaya, eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda: 52oyo n'agenda ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. 53N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwa bafuta, n'amussa mu ntaana eyabajjibwa mu jjinja, omutateekebwanga muntu. 54Kale lwali lunaku lwa Kuteekateeka, essabbiiti ng'eneebaako enkya. 55N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera, ne balaba entaana, n'omulambo gwe bwe gwateekebwa. 56#Kuv 12:16; 20:10, Leev 23:8Ne bakomawo, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omugavu. Ne ku lunaku olwa ssabbiiti ne bawummula ng'etteeka bwe liri.

Currently Selected:

Lukka 23: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in