Yokaana 5

5
1Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka ku Yerusaalemi.
2Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano. 3Mu ebyo mwagalamirangamu ekibiina ky'abalwadde, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okubimba: 4kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okugendamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe bwe yabanga nabwo.] 5Ne wabaawo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana. 6Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu? 7Omulwadde n'amuddamu nti Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera: nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu. 8#Mat 9:6Yesu n'amugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule. 9#Yok 9:14Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula.
Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti. 10#Yer 17:21, Luk 6:2Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti Leero ssabbiiti, muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo. 11Naye n'abaddamu nti Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule. 12#Luk 5:21Ne bamubuuza nti Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti Weetikke otambule? 13Naye eyawonye nga tamanyi bw'ali: kubanga Yesu yali amaze okugenda, abantu abaali mu kifo kiri nga bangi. 14#Yok 8:11Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu yeekaalu, n'amugamba nti Laba, oli mulamu: toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako. 15Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamponya. 16#Mat 12:14Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti. 17#Yok 9:4Naye Yesu n'abaddamu nti Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola. 18#Yok 7:30; 10:33Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
19 # Yok 3:11,32 Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti
Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo. 20#Yok 3:35Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye. 21Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa. 22#Dan 7:13,14, Bik 17:31Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna; 23#Baf 2:10,11, 1 Yok 2:23, Luk 10:16bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma. 24#Yok 3:16,18; 8:51, 1 Yok 3:14Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu. 25#Mat 8:22, Bef 2:5,6Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu. 26#Yok 1:1-4Kuba nga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye; 27#Dan 7:10,14, Yok 5:22era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu. 28Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, 29#Yok 6:40, Dan 12:2, Mat 16:27ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.
30 # Yok 5:19; 6:38 Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala. 31#Yok 8:14Bwe nneetegeeza ebyange nze, okutegeeza kwange si kwa mazima. 32#Yok 5:36,37, 1 Yok 5:9Waliwo omulala ategeeza ebyange; nange mmanyi nti ebyange by'ategeeza bya mazima. 33#Yok 1:19-34Mmwe mwatumira Yokaana naye n'ategeeza amazima. 34Naye okutegeeza kw'omuntu sikukkiriza nze: naye njogera ebyo mmwe mulokoke. 35#Luk 1:17Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala ekiseera kitono okusanyukira okutangaala kwe. 36#1 Yok 5:9, Yok 1:33; 3:2Naye okutegeeza kwe nnina kwe kukulu okusinga okwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gitegeeza ebyange nga Kitange ye yantuma. 37#Mat 3:17, Ma 4:12Era Kitange eyantuma oyo ye yategeeza ebyange. Temwawulira ddoboozi lye n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye. 38So temulina kigambo kye nga kibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza. 39#Luk 24:27, 2 Tim 3:15-17, 1 Peet 1:11Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange; 40era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu. 41Siweebwa bantu kitiibwa. 42Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu. 43#Mat 24:5Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza. 44#Yok 12:43, Mat 23:5-7Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka? 45#Ma 31:26Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira. 46#Lub 3:15; 49:10, Ma 18:15Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze. 47#Yok 7:19Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?

Currently Selected:

Yokaana 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in