Ebikolwa By'Abatume 2

2
1 # Leev 23:15-21, Bik 1:14 Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu. 2#Bik 4:31Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng'empewo ewuuma n'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. 3#Mat 3:11Ne kulabika ku bo ennimi ng'ez'omuliro nga zeeyawuddemu: buli lulimi ne lutuula ku muntu. 4#Bik 4:31; 10:44-46; 19:6Bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne batanula okwogera ennimi endala, nga Omwoyo bwe yabawa okuzoogera.
5 # Bik 13:26 Waaliwo mu Yerusaalemi Abayudaaya nga batudde, abantu abeegendereza, abaava mu buli ggwanga ly'abantu wansi w'eggulu. 6Okuwuuma okwo bwe kwabaawo, ekibiina ne kikuŋŋaana ne kisamaalirira, kubanga baawulira buli muntu nga boogera mu lulimi lw'ewaabwe. 7Ne bawuniikirira bonna, ne beewuunya, nga boogera nti Laba, bano bonna aboogera si Bagaliraaya? 8Era kiki ffe buli muntu okuwulira olulimi lw'ewaffe gye twazaalibwa? 9Abapaazi n'Abameedi, n'Abeeramiti, n'abali mu Mesopotamiya, mu Buyudaaya ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10mu Fulugiya ne mu Panfuliya, mu Misiri ne mu nsi ez'e Libuwa eziriraanye Kuleene, n'Abaruumi abagenyi, Abayudaaya n'abakyufu, 11Abakuleete n'Abawalabu, tuwulira bano nga boogera mu nnimi zaffe eby'ekitalo ebya Katonda. 12Bonna ne beewuunya ne babuusabuusa ne bagambagana nti Amakulu gaakyo kiki kino? 13Naye abalala ne babasekerera ne bagamba nti Batamidde omwenge omusu.
14Naye Peetero bwe yayimirira ne bali ekkumi n'omu, n'ayogerera waggulu n'abagamba nti Abasajja Abayudaaya n'abatuula mu Yerusaalemi mwenna, mutegeere kino, mutegere amatu ebigambo byange. 15Kubanga bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza; kubanga ye ssaawa ey'okusatu ey'emisana. 16#Yo 2:28-32Naye bino bye byayogerwa nnabbi Yoweeri nti
17Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Katonda,
Ndifuka ku omwoyo gwange ku balina omubiri bonna:
Batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula,
N'abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa,
N'abakadde bammwe baliroota ebirooto:
18Weewaawo, ne ku baddu bange n'abazaana bange mu nnaku ziri
Ndibafukira ku Mwoyo gwange, baliragula.
19Ndireeta eby'ekitalo mu ggulu waggulu
N'obubonero mu nsi wansi,
Omusaayi n'omuliro n'okunyooka kw'omukka.
20Enjuba erifuuka ekizikiza,
N'omwezi okuba omusaayi,
Olunaku lwa Mukama
Olukulu olulitenderezebwa nga terunnaba kujja.
21 # Bar 10:13 Olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka.
22 # Yok 3:2 Abasajja Abaisiraeri, muwulire ebigambo bino. Yesu Omunazaaleesi, omuntu eyabalagibwa Katonda mu bigambo eby'amaanyi n'eby'amagero n'obubonero, Katonda bye yamukozanga wakati mu mmwe, nga mmwe bwe mumanyi; 23#Bik 4:28, 1 Peet 1:20oyo bwe yaweebwayo nga Katonda bwe yasooka okuteesa n'okumanya, mwamutwala ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababi, ne mu mutta. 24#Bik 3:15Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza. 25#Zab 16:8-11Kubanga Dawudi amwogerako nti
Nnalaba Mukama ennaku zonna mu maaso gange,
Kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo, nneme okusagaasagana.
26Omutima gwange kyegwava gwesiima, olulimi lwange ne lusanyuka;
Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi:
27 # Bik 13:35 Kubanga tolindeka bulamu bwange mu Magombe,
So toliwaayo Mutukuvu wo kuvunda.
28Wanjigiriza amakubo g'obulamu;
Olinjijuza essanyu n'amaaso go.
29 # Bik 13:36, 1 Bassek 2:10 Abasajja ab'oluganda, nnyinza okwogerera n'obuvumu mu maaso gammwe ebya jjajjaffe omukulu Dawudi nti yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waffe ne kaakano. 30#Zab 89:3,4, 2 Sam 7:12,13, Zab 132:11Kale, bwe yali nnabi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu ab'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye; 31#Zab 16:10bwe yalaba olubereberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavunda. 32Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, fenna ffe bajulirwa. 33#Bik 1:4Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano kye muwulidde. 34#Zab 110:1Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye yayogera yennyini nti
Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35Okutuusa lwe nditeeka abalabe bo okuba entebe y'ebigere byo.
36 # Bik 5:31 Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.
37 # Bik 16:30 Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya? 38#Bik 3:17-19, Luk 24:47Peetero n'abagamba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu. 39#Yo 2:32, Is 57:19Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kwa baana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe. 40#Ma 32:5, Baf 2:15Era n'abategeeza mu bigambo ebirala bingi n'ababuulirira ng'agamba nti Mulokolebwe mu mirembe gino egyakyama. 41Awo abakkiriza ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwako ku lunaku luli abantu ng'enkumi ssatu. 42#Bik 20:7Ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba.
43Buli muntu n'atya: eby'amagero bingi n'obubonero ne bikolebwanga abatume. 44#Bik 4:32Bonna abakkiriza baali wamu, ne baba nga bassa kimu mu byonna, 45eby'obugagga byabwe n'ebintu bye baali nabyo ne babitunda ne bagabiranga bonna nga buli muntu bwe yali yeetaaga. 46#Bik 2:42Nabo nga banyiikiriranga bulijjo n'omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nnyumba eka, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa, 47#Bik 4:4; 5:14; 11:21; 14:1nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna. Mukama n'abongerangako bulijjo abaalokokanga.

Currently Selected:

Ebikolwa By'Abatume 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in