Ebikolwa By'Abatume 2:2-4
Ebikolwa By'Abatume 2:2-4 LUG68
Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng'empewo ewuuma n'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. Ne kulabika ku bo ennimi ng'ez'omuliro nga zeeyawuddemu: buli lulimi ne lutuula ku muntu. Bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne batanula okwogera ennimi endala, nga Omwoyo bwe yabawa okuzoogera.