Olubereberye 2

2
1Bwe bityo eggulu n'ensi, n'ebirimu byonna, ne biggwa okukola.#Kuv 20:11; 31:17, Beb 4:4 2Ku lu nnaku olwomusanvu Katonda n'amala emirimu gyonna gye yakola, n'awummulira ku lunaku olwomusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola. 3Katonda n'awa omukisa olunaku olwomusanvu n'alutukuza, kubanga olwo lwe yawummulirako emirimu gye gyonna gye yakola.
Abantu abaasooka ku nsi (2:4—4:26)
4Bino by'ebifa ku ggulu n'ensi nga bwe byatondebwa. Ku lunaku Mukama Katonda kwe yakolera ensi n'eggulu, 5waali tewannamera muti gwonna ogw'omu nsiko wadde omuddo, kubanga Mukama Katonda yali tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi; era nga tewali muntu alima ensi. 6Naye amazzi gaavanga mu ttaka, ne gannyikiza ensi.
Omuntu mu lusuku mu Edeni
7Mukama Katonda n'abumba omuntu n'enfuufu ey'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'alyoka abeera omulamu.#Lub 3:19; 7:22, Yob 33:4, Mub 11:7, 1 Kol 15:45,47 8Mukama Katonda n'asimba olusuku mu Edeni, ku luuyi olw'ebuvanjuba; n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba.#Lub 13:10, Is 51:3 9Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya. Wakati mu lusuku mwalimu omuti ogw'obulamu, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi.#Lub 1:17; 3:22, Kub 22:2,14 10Omugga ne gusibuka mu Edeni okufukiriranga amazzi mu lusuku; ne gweyawulamu ne gufuuka emigga ena. 11Ogwolubereberye erinnya lyagwo Pisoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavira, erimu zaabu;#Lub 25:18, 1 Sam 15:7 12ne zaabu ey'omu nsi eyo nnungi; mulimu bedola n'amayinja aga sokamu. 13Ogwokubiri erinnya lyagwo Gikoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi. 14Ogwokusatu nga guyitibwa Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'ogwokuna nga guyitibwa Fulaati.#Dan 10:4 15Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu lusuku Edeni alulimenga, alulabirirenga. 16Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti, “Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga; 17naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako, kubanga olunaku lw'oligulyako lw'olifa.”
Okutondebwa kw'omukazi
18Awo Mukama Katonda n'ayogera nti, “Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; nnaamukolera omubeezi amusaanira.” 19Mukama Katonda n'addira ettaka n'akolamu buli nsolo ey'omu nsiko, na buli kinnyonyi ekibuuka mu bbanga; n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita; n'omuntu buli linnya lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye lyafuuka erinnya lyakyo.#Lub 1:20,24 20Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira. 21Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo.#Lub 15:12, 1 Sam 26:12 22Mukama Katonda n'akola omukazi mu lubiriizi lw'aggye mu muntu, n'amuleeta eri omuntu. 23Omuntu n'ayogera nti,
“Otyo! Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange,
ye nnyama evudde mu nnyama yange;
naye anaayitibwanga mukazi,
kubanga aggyiddwa mu musajja.”#Lub 29:14, Balam 9:2, 2 Sam 5:1, 1 Kol 11:8, Bef 5:30#2:23 Omukazi mu Lwebbulaniya, “Ishshah,” nga kiva mu kigambo “Ish,” ekitegeeza omusajja.
24N'olwekyo, omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.#Mat 19:5, Mak 10:7, 1 Kol 6:16, Bef 5:28-31 25Bombi baali bwereere, omusajja ne mukazi we, naye tebaakwatibwa nsonyi.

Valið núna:

Olubereberye 2: LBR

Áherslumerki

Deildu

Afrita

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in