Versi Alkitab

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

Ganda

Ekitongole kya Biblica, The International Bible Society, kituusa Ekigambo kya Katonda eri abantu bonna mu nsi nga kiyita mu kukyusa Ebyawandiikibwa okuva mu nnimi ezakozesebwa mu biro ebyʼedda mu Isirayiri ne mu mawanga agaliraanyeewo, okubizza mu nnimi ezʼennaku zino ezitegeerekeka; ne mu kukuba mu kyuma ebiwandiikiddwa; awamu nʼokukozesa Ebyawandiikibwa mu ngeri endala yonna okusobola okubuulira enjiri. Emirimu gino Biblica egikolera mu zissemazinga zino wammanga: mu Afrika, ne mu Asiya Pasifiki, ne mu Bulaaya, ne mu Amerika ekyʼomu Bukiikaddyo, ne mu Amerika ekyʼomu Bukiikakkono, ne mu nsi ezʼomu Buwalabu. Biblica ekozesa Ekigambo kya Katonda okutuuka ku bantu bonna mu nsi yonna, abantu abo bakyusibwe mu bulamu bwabwe nga bakkiriza Yesu Kristo.


Biblica, Inc.

EEEE PENERBIT

Pelajari Lebih Lanjut

Versi Lain oleh Biblica, Inc.