ENTANDIKWA Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo kino ekiyitibwa “Entandikwa,” kye kitabo ekinnyonnyola okutondebwa kw'ensi n'okw'ebintu, n'obujeemu bw'abantu n'okubonaabona kwabwe, era n'engeri Katonda gy'akolaganamu n'abantu.
Ekitabo kino kiyinza okwawulwamu ebitundu ebikulu bibiri:
1. Emitwe 1-11: Ebyafaayo eby'abantu abaasooka. Muno mwe muwandiikiddwa ebikwata ku Adamu ne Haawa, Kayini ne Abeeli, Noowa, omujjuzo gw'amazzi, n'omunaala gw'e Babeeli.
2. Emitwe 12-50: Ebyafaayo bya bajjajja b'Abayisirayeli abaasooka. Asooka ye Aburahamu, amanyiddwa olw'okukkiriza n'obuwulize bye yalina ewa Katonda; okwo ne kuddako mutabani we Yisaaka, ne muzzukulu we Yakobo era gwe bayita Yisirayeli, ne batabani ba Yakobo ekkumi n'ababiri abasibukamu ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri. Essira lisimbiddwa ku Yosefu, omu ku batabani ba Yakobo, n'ebyo ebyavaako Yakobo ne batabani be n'ab'ennyumba zaabwe okuwaŋŋangukira e Misiri.
Weewaawo ekitabo kino kyogera ku byafaayo by'abantu naye ensonga nkulu mu byonna by'ebyo Katonda bye yakola. Ekitabo kitandika nga kikakasa nti Katonda ye yatonda ensi, ne kimaliriza nga kiraga nti Katonda akyayongera okulumirwa abantu be. Mu kitabo kyonna Katonda gwe mutwe omukulu: alamula n'abonereza aboonoonyi, akulembera n'ayamba abantu be, era n'abakolera ebyamagero.
Ekitabo kino kyawandiikibwa okulaga ebyafaayo eby'okukkiriza kw'abantu era n'okuyamba okunyweza okukkiriza okwo.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Okutondebwa kw'ensi n'okw'abantu 1:1–2:25
Entandikwa y'obujeemu bw'abantu n'okubonaabona 3:1-24
Okuva ku Adamu okutuuka ku Noowa 4:1–5:32
Noowa n'omujjuzo gw'amazzi 6:1–10:32
Omunaala gw'e Babeeli 11:1-9
Okuva ku Seemu okutuuka ku Aburaamu 11:10-32
Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo 12:1–35:29
Bazzukulu ba Esawu 36:1-43
Yosefu ne baganda be 37:1–45:28
Abayisirayeli nga bali mu Misiri 46:1–50:26
Pilihan Saat Ini:
ENTANDIKWA Ennyanjula: LBwD03
Sorotan
Berbagi
Salin
Ingin menyimpan sorotan di semua perangkat Anda? Daftar atau masuk
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.