1
ENTANDIKWA 11:6-7
Luganda DC Bible 2003
Mukama n'agamba nti: “Laba bano bonna bali bumu, era boogera olulimi lumu. Eno nno ye ntandikwa y'ebyo bye balikola. Tewali kye baagala kukola kiribalema. Kale tukke tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
Bandingkan
Telusuri ENTANDIKWA 11:6-7
2
ENTANDIKWA 11:4
Ne bagamba nti: “Twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka ku ggulu, twekolere erinnya, era tuleme kusaasaanyizibwa ku nsi yonna.”
Telusuri ENTANDIKWA 11:4
3
ENTANDIKWA 11:9
Ekibuga ekyo ne kiyitibwa Babeeli, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi yonna, era okuva awo, n'asaasaanya abantu ku nsi yonna.
Telusuri ENTANDIKWA 11:9
4
ENTANDIKWA 11:1
Ensi yonna yalina olulimi lumu n'ebigambo bye bimu ebyogerwa.
Telusuri ENTANDIKWA 11:1
5
ENTANDIKWA 11:5
Awo Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abantu bye bazimba.
Telusuri ENTANDIKWA 11:5
6
ENTANDIKWA 11:8
Awo Mukama n'abasaasaanya ku nsi yonna, ne balekera awo okuzimba ekibuga.
Telusuri ENTANDIKWA 11:8
Beranda
Alkitab
Rencana
Video