Amas 19

19
1Akawungeezi bamalayika ababiri ne batuuka e Sodoma. Loti yali atudde ku wankaaki w'ekibuga. Bwe yabalaba, n'ayimuka n'agenda okubasisinkana, n'avunnama ku maaso ge ku ttaka. 2N'agamba nti: “Bakama bange, mbeegayiridde, mukyame ew'omuweereza wammwe, musule wano; munaabe ku bigere, awo enkya muyinza okukeera ne mwongera olugendo lwammwe.” Ne bagaana nti: “Nedda, ekiro tunaakimala mu mbuga y'ekibuga.” 3N'abasindirira nnyo, ne bakyama ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye. N'abafumbira emmere; yafumba omugaati ogutazimbulukuse, ne balya.
4 # Abal 19,22; 20,13. #Abal 19,22-24.Baali tebannagenda kwebaka, abasajja ab'omu kibuga, abasajja ab'e Sodoma, okuva ku muto okutuuka ku mukadde, abantu bonna okutuuka ku asembayo, ne bazinda ennyumba. 5Ne bayita Loti ne bamubuuza nti: “Abasajja abaayingidde ewuwo ekiro baluwa? Batufulumize eno twebake nabo.”
6Loti n'afuluma gye bali oluggi n'aluggalira ku mugongo, n'abasaba nti: 7“Mbeegayiridde, baganda bange, temukola kya bugwenyufu ekyo. 8Nnina wano bawala bange babiri embeerera; ka mbabafulumize mubakole nga bwe mwagala, naye abasajja bano temubaako kye mubakola, kubanga bazze kwewogomako wano mu nnyumba yange.” 9Bali ne bagamba nti: “Ddira muli! Omusajja ono eyajja obugwira kuno y'ayagala okutusalirawo? Kale nno ggwe tujja okubonyaabonya n'okusinga bano.” Ne basindirira nnyo Loti, ne basembera bamenye oluggi. 10Naye abasajja ne bakunuukiriza Loti ne bamuyingiza munda ne baggalawo oluggi; 11ate bali abaali ebweru ne babaziba amaaso okuva ku muto okutuuka ku mukulu, eby'okuzuula omulyango ne babivaako.
12Abasajja ne bagamba Loti nti: “Wano olinawo omuntu yenna owuwo? Bakoddomi bo, batabani bo, bawala bo, oba omulala yenna owuwo ali mu kibuga? Muggye mu kifo kino, 13kubanga tugenda okukizikiriza, anti emiranga gyabwe eri Omukama egyemulugunyiza abalimu minene, kyavudde atusindika, tukizikirize.” 14Loti n'afuluma, n'abuulira bakoddomi be abaali ab'okuwasa bawala be, n'agamba nti: “Mwanguwe, muve mu kifo kino, kubanga Omukama agenda okuzikiriza ekibuga.” Bo ne balowooza nti asaaga busaazi.
15Mmambya ng'asala bamalayika ne bamusindirira nti: “Situka, twala mukazi wo, ne bawala bo ababiri b'olina wano, sikulwa ng'osaanawo ng'ekibuga kibonerezebwa.” 16Yali akyesisiggiriza, abasajja ne bamukwata omukono, n'omukono gwa mukazi we n'egya bawala be bombi ne babafulumya, ne babateeka ebweru w'ekibuga, kubanga Omukama yali abakwatiddwa ekisa.
17Olwabatuusa ebweru w'ekibuga, omu n'amugamba nti: “Dduka, owonye obulamu bwo. Totunula mabega wadde okuyimirira awalala wonna mu museetwe; ddukira mu lusozi, sikulwa ng'osaanawo.” 18Loti ne yeegayirira nti: “Ssebo, 19singa nno omuweereza wo asanze ekisa mu maaso go, anti n'ekisa kyo ky'onkoledde kinene bw'owonyezza obulamu bwange, naye sisobola kuddukira mu nsozi; naaba sinnatuukayo ng'akabenje kansanga, nga nfa. 20Okumpi wano waliwo akabuga gye nsobola okuddukira, katono, ka nzirukire mu ako; si katono? Olwo nzija kulama.” 21N'amuddamu nti: “Kale n'ekyo ky'osabye nkikukkirizza: sijja kuzikiriza kabuga k'oyogeddeko. 22Yanguwa owonere eyo, kubanga sijja kubaako kye nkola okutuusa ng'okatuuseemu.” Akabuga ako kyekaava kayitibwa Zowari.#19,22 Zowari kitegeeza Akatono.
23Loti okuyingira Zowari ng'enjuba evuddeyo ku nsi. 24Omukama n'atonnyesa ku Sodoma ne Gomorra ebibiriiti n'omuliro nga biva ew'Omukama mu ggulu, 25bw'atyo n'azikiriza ebibuga bino n'omuseetwe gwonna, abantu b'omu bibuga bonna, n'ebimera by'omu nsi eyo byonna. 26Naye muka Loti yatunula emabega, n'afuuka empagi y'omunnyo.
27Yiburayimu bwe yazuukuka ku makya, n'ajja ku kifo we yayimirira mu maaso g'Omukama. 28N'atunula wansi ku Sodoma ne Gomorra n'okusala omuseetwe, n'alaba omukka nga guttunka ku nsi eyo nga guli ng'omukka oguva mu kabiga. 29Katonda lwe yazikiriza ebibuga eby'omu museetwe, yajjukira Yiburayimu, n'aggya Loti mu kabenje bwe yazikiriza ebibuga Loti mwe yali.
Ensibuko y'Abamowabu n'Abammoni
30Loti n'ava e Zowari ne bawala be ababiri n'ayambuka n'asenga mu nsozi; yali atidde okusigala mu Zowari. N'akola amaka ge mu mpuku, ye ne bawala be ababiri.
31Olumu omuwala omukulu n'agamba muto we nti: “Kitaffe akaddiye, ate mu nsi temuli musajja n'omu eyandisobodde okutuwasa ng'empisa bw'eri mu nsi yonna. 32Jjangu tunywese kitaffe evviini twebake naye tukuume ezzadde nga tuyita mu kitaffe.” 33Ekiro ekyo ne batamiiza kitaabwe omwenge, omuwala omukulu n'ayingira ne yeebaka ne kitaawe. Loti teyawulira muwala we yeebakira ne we yazuukukira. 34Ne ku lunaku olwaddirira, omukulu n'agamba muto we nti: “Nze jjo ekiro neebaka ne kitange, ne mu kiro kino era tumunywese evviini, ggwe ojja kuyingira weebake naye, tukuume ezzadde nga tuyita mu kitaffe.” 35N'ekiro ekyo era ne batamiiza kitaabwe omwenge, omuto n'ayingira okwebaka naye; ne ku olwo teyawulira muwala we we yeebakira ne we yazuukukira. 36Bwe batyo bawala ba Loti bombi ne baba embuto nga bazifunye ku kitaabwe. 37Omukulu n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma Mowabu;#19,37 Mowabu kitegeeza avudde mu kitange. ye kitaabwe w'Abamowabu abaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero. 38N'omuto n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma Benammi;#19,38 Benammi kitegeeza Mutabani w'abantu bange. ye kitaabwe w'Abammoni abaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Yiburayimu e Gerari

Chwazi Kounye ya:

Amas 19: BIBU1

Pati Souliye

Pataje

Kopye

None

Ou vle gen souliye ou yo sere sou tout aparèy ou yo? Enskri oswa konekte