Amas 17

17
1 # 15,1-21. Aburaamu bwe yali aweza emyaka kyenda mu mwenda, Omukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza wa buli kantu.#17,1 Katonda Omuyinza wa buli kantu: Mu y'Olweb. El Shaddai, ekitegeeza Katonda w'oku lusozi. Erinnya ligenderera okutegeeza nti olusozi nga bwe lugulumidde, ne Katonda bw'asukkulumye. Laba Okuv 6,3. Beera nange, era mu maaso gange tobaako musango. 2Nzija kukola endagaano yange naawe, nzija kukuwa oyale nnyo nnyo.” 3Aburaamu n'agwa wansi ku maaso ge.
4Katonda n'amugamba nti: “Ye eno endagaano yange naawe: Olibeera kitaabwe w'amawanga mangi. 5Tokyaddayo kuyitibwa Aburaamu,#17,5 Oba: Aburawamu (Aburahamu). wabula ojja kuyitibwanga Yiburayimu, kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi.#17,5 Aburaamu kitegeeza Omuzadde Omutiibwa, ate Yiburayimu ne kitegeeza Kitaawe w'Amawanga. 6Nzija kukuwa ozaale nnyo nnyo, amawanga galisibuka mu ggwe, era ne bakabaka mu ggwe mwe balisibuka. 7Nzija kukola endagaano yange naawe n'ezzadde lyo eririkuddirira amazadde gammwe gonna, ng'endagaano ey'olubeerera, mbeere Katonda wo ne Katonda w'ezzadde lyo eririkuddirira. 8Ggwe n'ezzadde eririkuddirira ndibawa ensi mw'okungulidde, ensi yonna ey'e Kanaani ebeere yammwe emirembe gyonna; nze ndibeera Katonda waabwe.”
9Katonda n'agamba Yiburayimu nti: “Naawe okuumanga endagaano yange n'ezzadde lyo eririkuddirira mu mazadde n'amazadde. 10Eno ye ndagaano yange, gye mulikuuma wakati wange nammwe n'ezzadde lyo eririkuddirira: Mu mmwe buli musajja wa kutayirirwa. 11#17,24; 21,4.Mulitayiriranga emibiri gyammwe, ke kaliba akabonero k'endagaano wakati wange nammwe. 12Buli mwana wammwe omulenzi awezezza ennaku omunaana wa kutayirirwa; buli musajja yenna amazadde gammwe gonna, abeere wa waka, oba wamugula ku mugwira yenna, kwe kugamba atali wa mu zadde lyo. 13Owa waka ne gw'oguze bateekwanga okutayirirwa. Endagaano yange eno nga neeyamba emibiri gyammwe ndagaano ya lubeerera. 14Omusajja atali mukomole, oyo ataatayirirwa mu mubiri, ajja kukutulwanga ku bantu be; anaabanga amenye endagaano yange.”
15 # 18,9-15. Katonda n'agamba Yiburayimu nti: “Sarayi, mukazi wo, tokyamuyitanga Sarayi, wabula erinnya lye anaayitibwanga Saara.#17,15 Saara kitegeeza omumbejja. 16Nzija kumuwa omukisa, era nzija kukuwa omwana ow'obulenzi mu ye; nzija kumuwa omukisa, amawanga galisibuka mu ye; bakabaka b'amawanga balisibuka mu ye.” 17Yiburayimu n'agwa wansi ku maaso ge, n'aseka muli munda nga yeebuuza nti: “Ow'emyaka ekikumi afune omwana ow'obulenzi? Ne Saara, ow'emyaka ekyenda alizaala?” 18N'agamba Katonda nti: “Singa Yisimayeli omuwadde n'aba mulamu.” 19Katonda n'agamba nti: “Ky'ekyo, naye Saara mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow'obulenzi, olimuyita erinnya lye Yizaake. Nzija kunyweza endagaano yange naye, nga ye ndagaano ey'olubeerera n'ezzadde lye eririmuddirira. 20#25,13-16.Ne by'ogambye ku Yisimayeli mbiwulidde. Naye ndimuwa omukisa, ndimuwa azaale, ayale nnyo nnyo; alizaala abalangira kkumi na babiri, ndimufuula eggwanga eddene. 21Yo endagaano yange nzija kuginyweza ne Yizaake Saara gw'alizaala mu mwaka ogujja mu bbanga nga lino.” 22Katonda bwe yamala okwogera ne Yiburayimu, n'agenda waggulu okuva awaali Yiburayimu.
23Ku lunaku olwo lwennyini, Yiburayimu n'addira Yisimayeli mutabani we ne bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne bonna be yali aguze, kwe kugamba, abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, n'abatayirira, nga Katonda bwe yali amulagidde. 24Yiburayimu okutayirirwa yali wa myaka kyenda mu mwenda; 25ne mutabani we Yisimayeli lwe yatayirirwa, yali wa myaka kkumi n'esatu. 26Yiburayimu ne mutabani we Yisimayeli baatayirirwa ku lunaku olwo lwennyini, 27n'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye abaali bazaaliddwa omwo ne be yali aguze ku bagwira, bonna baatayirirwa wamu naye.
Okulabika e Mamure

Chwazi Kounye ya:

Amas 17: BIBU1

Pati Souliye

Pataje

Kopye

None

Ou vle gen souliye ou yo sere sou tout aparèy ou yo? Enskri oswa konekte