Amas 6:1-4

Amas 6:1-4 BIBU1

Abantu bwe baamala okwala ku nsi, nga bazadde n'abawala, batabani ba Katonda ne balaba bawala b'abantu nga babalagavu, ne beefunira mu bo abakazi okuva mu bonna be baalondanga. Katonda n'agamba nti: “Omwoyo gwange tegulisigala mu muntu mirembe gyonna, kubanga mubiri bubiri; ennaku ze ziriba myaka kikumi mu abiri.” Mu biseera ebyo, era ne mu biseera ebyaddirira batabani ba Katonda okwewasiza bawala b'abantu ne babazaalira abaana, ku nsi kwaliko Banefili; be baabo abantu abazira abatutumufu ab'emirembe egy'edda.

Read Amas 6