1
Amas 9:12-13
BIBULIYA ENTUKUVU
Era Katonda n'agamba nti: “Kano ke kabonero k'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe n'ebitonde byonna ebiri nammwe. Ŋŋenda kussa musoke wange mu bire y'aliba akabonero k'endagaano gye nkoze n'ensi.
Compare
Explore Amas 9:12-13
2
Amas 9:16
Musoke bw'aliba mu bire, ndimulaba ne nzijukira endagaano ey'olubeerera, wakati wa Katonda na buli kiramu kyonna ekya buli kika ekiri ku nsi.”
Explore Amas 9:16
3
Amas 9:6
“Buli yenna aliyiwa omusaayi gw'omuntu, n'ogugwe omuntu aliguyiwa; kubanga omuntu Katonda yamukola mu kifaananyi kye.
Explore Amas 9:6
4
Amas 9:1
Katonda n'awa Nowa ne batabani be omukisa, n'ayogera gye bali nti: “Mwale, mweyongere, mujjuze ensi.
Explore Amas 9:1
5
Amas 9:3
Buli ekitambula ekiramu y'eriba emmere yammwe, kye kimu ne ku bimera, byonna mbibawadde.
Explore Amas 9:3
6
Amas 9:2
Mujja kukuba entiisa mukankanye ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, byonna ebitambula ku lukalu n'ebyennyanja byonna mu nnyanja; byonna biweereddwa mu mikono gyammwe.
Explore Amas 9:2
7
Amas 9:7
Nammwe mwale, mweyongere obungi, mubune ku nsi, mweyongere ku yo.”
Explore Amas 9:7
હોમ
બાઇબલ
યોજનાઓ
વિડિઓઝ