1
Olubereberye 2:24
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
Comparer
Explorer Olubereberye 2:24
2
Olubereberye 2:18
MUKAMA Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
Explorer Olubereberye 2:18
3
Olubereberye 2:7
MUKAMA Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu.
Explorer Olubereberye 2:7
4
Olubereberye 2:23
Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
Explorer Olubereberye 2:23
5
Olubereberye 2:3
Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
Explorer Olubereberye 2:3
6
Olubereberye 2:25
Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
Explorer Olubereberye 2:25
Accueil
Bible
Plans
Vidéos