ENTANDIKWA 20
20
Aburahamu ne Abimeleki
1Awo Aburahamu n'ava e Mamure, n'alaga mu nsi ey'omu bukiikaddyo, n'abeera wakati wa Kadesi ne Suuri. Bwe yali mu Gerari, 2n'agamba nti mukazi we Saara mwannyina. Awo Abimeleki, kabaka w'e Gerari, n'atuma ne bamuleetera Saara.#Laba ne Nta 12:13; 26:7 3Naye Katonda n'ajjira Abimeleki ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Laba, ggwe oli mufu wa jjo olw'omukazi gwe watwala, kubanga alina bba.”
4Naye Abimeleki yali tasembereranga Saara. Abimeleki n'agamba nti: “Mukama, onotta abantu abatalina musango? 5Aburahamu yennyini si ye yaŋŋamba nti oyo mwannyina, era n'omukazi yennyini n'agamba nti mwannyina? Ekyo nakikola mu mutima ogutaliimu bukuusa era omulongoofu.”
6Katonda n'amugamba mu kirooto nti: “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima omulongoofu, kyennava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako. 7Kale kaakano zzaayo muk'omusajja. Omusajja oyo nga bw'ali mulanzi, ajja kukusabira oleme kufa. Naye bw'otoomuzzeeyo, manya nti ddala oli wa kufa, ggwe n'abantu bo bonna.”
8Abimeleki n'agolokoka enkya ku makya, n'ayita abaweereza be bonna, n'ababuulira ebyo byonna, ne batya nnyo. 9Awo Abimeleki n'ayita Aburahamu n'amugamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Kibi ki kye nakukola, olyoke ondeetere nze n'ab'omu bwakabaka bwange, ekibi ekyenkanidde awo? Wankola ekitagwanidde kukolebwa.” 10Abimeleki n'ayongera okugamba Aburahamu nti: “Wagenderera ki okukola otyo?”
11Aburahamu n'addamu nti: “Nalowooza nti mu kifo kino, tewali kutya Katonda, era nti bagenda kunzita olwa mukazi wange. 12Era n'ekirala, Saara mwannyinaze ddala, mwana wa kitange, naye nga si wa mmange, wabula yafuuka mukazi wange. 13Kale Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange, mbungeeterenga mu nsi engwira, ne ŋŋamba Saara nti: ‘Kino kye ky'ekisa ky'ononkoleranga: mu buli kifo mwe tunaatuukanga, ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ”
14Awo Abimeleki n'awa Aburahamu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, era n'amuddiza mukazi we. 15Abimeleki n'agamba nti: “Ensi eyange, yonna yiiyo, beera wonna w'oyagala.” 16N'agamba Saara nti: “Laba mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza, nga ke kabonero akakakasa bonna b'oli nabo nti toliiko musango, era nga wejjeeredde.” 17Awo Aburahamu n'asaba Katonda, Katonda n'awonya Abimeleki ne mukazi we n'abazaana be, ne basobola okuzaala abaana, 18kubanga Mukama yali asibye embuto z'abakazi bonna mu maka ga Abimeleki, olwa Saara muka Aburahamu.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 20: LB03
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.