ENTANDIKWA 17
17
Akabonero ak'endagaano
1Awo Aburaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinzawaabyonna. Ompuliranga, era okolanga ebituufu. 2Ndikola naawe endagaano, era ndikuwa abazzukulu bangi.” 3Aburaamu ne yeevuunika ku ttaka. Katonda n'amugamba nti: 4“Laba nkoze naawe endagaano. Oliba jjajja w'amawanga mangi. 5Era tokyayitibwanga Aburaamu, naye erinnya lyo linaabanga Aburahamu,#17:5 Aburahamu: Mu Lwebureeyi, erinnya eryo livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Jjajja w'amawanga amangi.” kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi.#Laba ne Bar 4:17 6Ndikuwa abazzukulu bangi, abamu ku bo baliba bakabaka. Oliba n'abazzukulu bangi, ne bafuuka amawanga. 7Ndinyweza endagaano gye nkoze naawe, era ne bazzukulu bo ab'emirembe gyonna, ebe ndagaano eteridiba. Nnaabanga Katonda wo era Katonda wa bazzukulu bo.#Laba ne Luk 1:55 8Era ndikuwa ggwe ne bazzukulu bo ensi eno mw'oli. Ensi yonna ey'e Kanaani eriba ya bazzukulu bo emirembe gyonna, era nze nnaabanga Katonda waabwe.”#Laba ne Bik 7:5
9Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Kale naawe wamu ne bazzukulu bo, munaakuumanga endagaano yange emirembe gyonna. 10Eno ye ndagaano wakati wammwe nange, ggwe ne bazzukulu bo, gye munaakuumanga: buli musajja mu mmwe, anaakomolwanga.#Laba ne Bik 7:8; Bar 4:11 11Munaakomolebwanga. Ako ke kabonero ak'endagaano wakati wammwe nange. 12Okuva kati okutuusa emirembe gyonna, buli mwana ow'obulenzi mu mmwe, anaakomolebwanga nga wa nnaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abazaalirwa mu maka gammwe, ne be mugula mu bagwira. 13Buli azaalirwa mu maka gammwe, ne buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe. 14Buli musajja atakomoleddwa, taabalirwenga mu bantu bange, kubanga aba amenye endagaano yange.”
15Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Mukazi wo tokyamuyita Saraayi. Okuva kati, Saara#17:15 Saara: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Mumbejja.” lye linnya lye. 16Ndimuwa omukisa era naawe ndikuwa omwana ow'obulenzi mu ye. Ddala ndimuwa omukisa, era aliba nnyina w'amawanga. Mu bazzukulu be mulibaamu bakabaka.”
17Aburahamu n'avuunama ku ttaka, kyokka n'aseka, n'agamba mu mutima gwe nti: “Omusajja ow'emyaka ekikumi anaafuna omwana, era Saara awezezza emyaka ekyenda anaazaala?” 18Awo n'agamba Katonda nti: “Waakiri nno Yisimayeli abe mulamu, ansikire!”
19Katonda n'agamba nti: “Nedda, mukazi wo Saara alikuzaalira omwana ow'obulenzi, era olimutuuma erinnya Yisaaka.#17:19 Yisaaka: Mu Lwebureeyi, kwe kugamba nti “Aseka.” Ndinyweza endagaano yange naye era ne bazzukulu be, n'eba ya mirembe gyonna. 20Ne by'osabidde Yisimayeli mbiwulidde. Kale ndimuwa omukisa, era ndimuwa abaana bangi, n'abazzukulu bangi nnyo. Alizaala abakungu kkumi na babiri, era bazzukulu be ndibafuula eggwanga eddene. 21Naye endagaano yange ndiginyweza na mutabani wo Yisaaka, Saara gw'alikuzaalira mu biseera nga bino omwaka ogujja.”
22Katonda bwe yamala okwogera ne Aburahamu, n'ava awali Aburahamu, n'agenda. 23Ku lunaku olwo lwennyini, Aburahamu n'akomola mutabani we Yisimayeli n'abaddu bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne be yagula, era n'abasajja bonna ab'omu maka ge, nga Katonda bwe yamugamba. 24Aburahamu yali wa myaka kyenda mu mwenda we yakomolerwa, 25ate mutabani we Yisimayeli yali wa myaka kkumi n'esatu. 26Aburahamu ne mutabani we Yisimayeli baakomolebwa ku lunaku lwe lumu, 27awamu n'abasajja bonna ab'omu maka ge, abaazaalirwamu ne be yagula ku bagwira.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 17: LB03
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.