ENTANDIKWA 13
13
Aburaamu ne Looti baawukana
1Aburaamu n'ayambuka, n'ava mu Misiri, ng'ali ne mukazi we, ne byonna bye yalina, n'alaga mu bukiikaddyo obwa Kanaani. Ne Looti n'agenda naye. 2Aburaamu yalina obugagga bungi: ente n'endiga n'embuzi, ne ffeeza, ne zaabu. 3N'ava e Negebu n'atambula ng'ayolekedde Beteli. N'atuuka mu kifo ekiri wakati wa Beteli ne Ayi, eweema ye we yasooka okubeera, 4era we yazimba alutaari. Aburaamu n'asinziza eyo Mukama.
5Era ne Looti eyagenda ne Aburaamu, yalina endiga n'embuzi n'ente ne weema. 6N'olwekyo tewaali kifo kibamala okubeera awamu, kubanga baalina ebintu bingi. 7Ne wasitukawo enkaayana wakati w'abasumba ba Aburaamu n'abasumba ba Looti. Era mu kiseera ekyo Abakanaani n'Abaperizi baali bakyali mu nsi eyo.
8Awo Aburaamu n'agamba Looti nti: “Waleme kubaawo nkaayana wakati wo nange, wadde wakati w'abasumba bo n'abange, kubanga tuli baaluganda. 9Ensi yonna yiiyo! Twawukane. Bw'oneeroboza oludda olwa kkono, nze nadda ku lwa ddyo. Bw'oneeroboza oludda olwa ddyo, nze nadda ku lwa kkono.”
10Looti ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yorudaani lwonna, okutuukira ddala e Zowari, nga lulimu amazzi mangi, nga luli ng'ennimiro ya Mukama oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.#Laba ne Nta 2:10 11Awo Looti, ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yorudaani, n'atambula ng'ayolekedde obuvanjuba. Ne baawukana. 12Aburaamu n'abeera mu nsi y'e Kanaani. Looti n'abeera mu bibuga eby'omu lusenyi, n'asimba eweema ye okumpi ne Sodoma. 13Abantu b'omu Sodoma baali babi, nga boonoonyi nnyo mu maaso ga Mukama.
Aburaamu alaga mu Heburooni
14Looti bwe yamala okwawukana ne Aburaamu, Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Weebunguluze amaaso go, otunule ku buli ludda ng'osinziira mu kifo mw'oli. 15Ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo ensi eyo yonna gy'olaba, ebe yiyo emirembe gyonna.#Laba ne Bik 7:5 16Ndikuwa abazzukulu bangi ng'enfuufu eri ku nsi, era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, ne bazzukulu bo bwe baliyinza okubalibwa. 17Situka olambule ensi eyo yonna, kubanga ndigikuwa.” 18Aburaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'abeera mu Heburooni, okumpi n'emivule gya Mamure. N'azimbira eyo Mukama alutaari.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 13: LB03
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.