YouVersion Logo
Search Icon

Luk 18

18
1Awo n'abagerera olugero nga bwe bateekwa okwegayirira buli kakedde n'obutakoowa. 2N'abagamba nti: “Mu kibuga ekimu mwalimu omulamuzi nga tatya Katonda, era n'abantu nga tabafaako. 3Mu kibuga ekyo era mwalimu ne nnamwandu eyajjanga gy'ali olutata ng'agamba nti: ‘Ntaasa omulabe wange.’ 4Ye n'alwawo ng'akyagaanyi; kyaddaaki n'agamba mu mutima munda nti: ‘Newandibadde Katonda simutya, n'abantu sibafaako, 5naye kubanga omukazi ono antawaanya, nzija kumutaasa, aleme kunkooya ng'ajjirira olutata.’ ” 6Awo Omukama n'agamba nti: “Muwulire omulamuzi omubi oyo ky'agamba. 7Kale nno Katonda talitaasa ababe be yeerondeddemu abakoowoola gy'ali emisana n'ekiro? Alibalwisa? 8Ka mbabuulire, agenda kubataasa mangu. Naye Omwana w'Omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
Omufarisaayo n'omusolooza w'omusolo
9Era yagerera abantu abamu olugero abaali beemanyi obutuukirivu nga banyooma abalala, n'agamba nti: 10“Abantu babiri baayambuka mu Kiggwa okwegayirira, omu nga Mufarisaayo omulala nga musolooza wa musolo. 11Omufarisaayo n'ayimirira n'asoma munda ye nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri ng'abantu abalala, abalyazaamaanyi, ababi, abenzi; era siri ng'omusolooza w'omusolo oyo. 12Buli wiiki nsiiba emirundi ebiri; buli kye nfuna kyonna ntonako ekyekkumi.’ 13Omusolooza w'omusolo ye n'ayimirira wala, nga tageza na kuyimusa maaso eri ggulu, ne yeekuba ekifuba ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.’ 14#Mat 23,12; Luk 14,11.Ka mbabuulire, oyo yaddayo ewuwe ng'atukudde, naye oli nedda. Kubanga buli eyeekuza alitoowazibwa; naye eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
Baleetera Yezu abaana abato
15 # Mat 19,13-15; Mar 10,13-16. Baali bamuleetera abaana abawere abakwateko; naye abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne babakomako. 16Naye Yezu n'abayita w'ali, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 17Mazima mbagamba nti yenna atayaniriza bwakabaka bwa Katonda nga mwana muto, talibuyingiramu n'akamu.”
Akabi k'obugagga
18 # Mat 19,18-30; Mar 10,17-31. Awo omwami omu n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, nnaakola ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” 19Yezu n'amugamba nti: “Ompitidde ki omulungi? Teri mulungi okuggyako Katonda yekka. 20#Okuv 20,12-16; Et 5,16-20.Ebiragiro obimanyi: ‘Toyendanga; Tottanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba; Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ ” 21Ye n'agamba nti: “Ebyo byonna nabikwata okuva obuto bwange.” 22Yezu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Okyabulwako kimu: Tunda by'olina owe abaavu, obugagga olibeera nabwo mu ggulu, ojje ongoberere.” 23Bwe yawulira ebyo, n'anakuwala, kubanga yali mugagga nnyo.
24Yezu n'amutunuulira, n'agamba nti: “Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kiba kyangu eŋŋamiya okuyita mu nnyindo y'empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” 26Awo abaali bawulira ne bagamba nti: “Awo nno ani asobola okulokoka?” 27Naye ye n'abagamba nti: “Ekitasoboka ku bantu, ku Katonda kisoboka.”
Empeera y'abaaleka byonna olwa Yezu
28Awo Petero n'agamba nti: “Kale ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.” 29Ye n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti mpaawo yaleka nnyumba ye, oba mukazi we, oba baganda be, oba baana be okubeera obwakabaka bwa Katonda, 30atalifuna n'asinzaawo emirundi mingi mu nsi muno, ssaako n'obulamu obutaggwaawo mu mirembe egirijja.”
Yezu alanga okubonaabona kwe omulundi ogwokusatu
31 # Mat 20,17-19; Mar 10,32-34. Awo Yezu n'azza ebbali Ekkumi n'Ababiri n'abagamba nti: “Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu, byonna abalanzi bye baawandiika ku Mwana w'omuntu bijja kutuukirira. 32Kubanga balimuwaayo mu b'amawanga n'aduulirwa, n'aweebuulwa, n'affujjirwa amalusu; 33balimuswanyuula ne bamutta; ate ku lunaku olwokusatu alizuukira.” 34Naye bo ne batabaako kye bategeera mu ebyo; ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa; ebyayogerwa tebaabitegeera.
Muzibe ow'e Yeriko awonyezebwa
35 # Mat 20,29-34; Mar 10,46-52. Bwe yali asemberera Yeriko, waaliwo muzibe eyali atudde ku kkubo ng'asabiriza. 36Bwe yawulira ekibiina nga kiyitawo, n'abuuza ogubadde. 37Ne bamugamba nti: “Yezu ow'e Nazareti y'ayita.” 38Awo n'akoowoola ng'agamba nti: “Yezu, Omwana wa Dawudi, nsaasira!” 39Abaali bakulembedde ne bamukomako, ne bamugamba asirike; naye ye n'aleekaana nnyo n'okusingawo nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira.” 40Yezu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali. 41Bwe yasembera n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?” N'agamba nti: “Mukama, ndabe.” 42Yezu n'amugamba nti: “Ddamu okulaba; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” 43Amangu ago n'addamu okulaba n'amugoberera ng'atendereza Katonda. N'abantu bonna bwe baalaba, ne batendereza Katonda.
Zakkayo

Currently Selected:

Luk 18: BIBU1

Tõsta esile

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in