Yow 4
4
1Omukama bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti Yezu agunze era abatiza abayigirizwa bangi n'okusinga Yowanna - 2sso Yezu yennyini si ye yali abatiza, wabula abayigirizwa be - 3n'ava mu Buyudaaya n'addayo mu Galilaaya. 4Yali wa kuyitira mu Samariya.
Emboozi n'omukazi Omusamariya
5 #
Amas 33,19; 48,22; Yos 24,32. Awo n'atuuka ku kibuga kya Samariya ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yali awadde mutabani we Yozefu. 6Oluzzi lwa Yakobo lwali awo. Yezu bw'atyo olugendo nga lumukooyezza, n'atuula awo ku luzzi. Essaawa yali nga ya mukaaga.
7Awo omukazi ow'omu Samariya n'ajja okukima amazzi. Yezu n'amugamba nti: “Mpa nnyweko.” 8Abatume baali bagenze mu kibuga okugula emmere. 9#Ezir 4,1-5; Nek 4,1-2.Omukazi Omusamariya n'amugamba nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze omukazi Omusamariya okunywa?” - anti Abayudaaya tebakkaanya na Basamariya. - 10Yezu n'amwanukula nti: “Oba kutegeera kirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti: ‘Mpa nnyweko,’ wamma ggwe wandimusabye, ye n'akuwa amazzi amalamu.” 11Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina kya kusenesaamu, n'oluzzi nalwo luwanvu; kale amazzi amalamu onoogaggya wa? 12Leero ggwe onookira jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno, yennyini mwe yanywanga n'abaana be n'amagana ge?” 13Yezu n'amuddamu nti: “Buli anywa ku mazzi gano aliddamu n'alumwa ennyonta; 14naye alinywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta; amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka nsulo ya mazzi agaligenda gatumbiira okutuusa mu bulamu obutaggwaawo.” 15Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago nneme kulumwa nnyonta na kujjanga kukima wano mazzi.” 16Yezu n'amugamba nti: “Genda oyite balo, okomewo wano.” 17Omukazi n'amuddamu nti: “Sirina baze.” Yezu n'amugamba nti: “Oyogedde bulungi nti: ‘Sirina baze,’ 18kubanga waakafuna abasajja bataano, era n'oyo gw'oli naye si balo; ekyo oyogedde kya mazima.” 19Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, ndaba ng'oli mulanzi. 20Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno, sso nga mmwe mugamba nti Yeruzaalemu kye kifo abantu mwe balagiddwa okusinziza.” 21Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, kkiriza nze; kubanga obudde bujja Taata nga temukyamusinziza ku lusozi luno, newandibadde mu Yeruzaalemu. 22Mmwe musinza kye mutamanyi, naye ffe tusinza kye tumanyi, kubanga obulokofu bufuluma mu Bayudaaya. 23Kyokka obudde buli kumpi, n'okutuuka butuuse abasinza abatuufu mwe bagenda okusinziza Taata mu mwoyo ne mu mazima; ne Taata abamusinza bwe batyo b'anoonya. 24Kubanga Katonda mwoyo, n'abamusinza bateekwa kumusinziza mu mwoyo ne mu mazima.” 25Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristu, ajja. Oyo bw'alijja alitutegeeza byonna.” 26Yezu n'amugamba nti: “Nze ayogera naawe nze wuuyo.” 27Mu kaseera ako kennyini n'abayigirizwa be ne batuuka; ne bamwewuunya okwogera n'omukazi. Sso tewaali yagamba nti: “Obadde oyagala ki?” oba nti: “Obadde oyogera ki naye?”
28Awo omukazi n'aleka awo ensuwa ye n'addayo mu kibuga, n'agamba abantu nti: 29“Mujje mulabe omuntu aŋŋambye byonna bye nakola. Teyandiba nga ye Kristu?” 30Awo ne bava mu kibuga ne bagenda gy'ali. 31Mu bbanga eryo abayigirizwa be ne bamusindirira nti: “Rabbi, lya ku mmere.” 32Ye n'abagamba nti: “Nnina emmere gye ndya mmwe gye mutamanyi.” 33Abayigirizwa be ne bagambagana nti: “Waliwo amuleetedde ekyokulya?” 34Yezu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola eyantuma ky'ayagala n'okumaliriza omulimu gwe. 35Kale mmwe temugamba nti: ‘Esigadde emyezi ena amakungula gatuuke?’ Naye nze mbagamba nti muyimuse amaaso, mutunuulire ennimiro bwe zitukudde, zirinze makungula. 36Omukunguzi afuna empeera ate ebibala n'abikuŋŋaanyiza obulamu obutaggwaawo; olwo omusizi n'omukunguzi ne bagatta essanyu lyabwe. 37#Yob 31,8; Mik 6,15.Wano enjogera w'etuukira, nti: ‘Omu asiga, omulala n'akungula.’ 38Nze mbatumye okukungula kye mutaateganira; abalala baategana; nammwe muyingidde mu kutegana kwabwe.”
39Abasamariya bangi ab'omu kibuga ekyo, ne bamukkiriza ku lw'okujulira kw'omukazi nti: “Aŋŋambye byonna bye nakola.” 40Abasamariya bwe bajja gy'ali, ne bamusaba asigale nabo; n'asulayo ennaku bbiri. 41Bangi n'okusingawo ne bamukkiriza olw'ebigambo bye. 42Ne bagamba omukazi nti: “Tetukyakkiriza lwa kubeera bigambo byo, kubanga naffe ffennyini twewuliridde, kati tumanyi ng'ono ddala ye mulokozi w'ensi.”
Yezu adda mu Galilaaya n'e Kana
43Oluvannyuma lw'ennaku ezo ebbiri, n'avaayo n'agenda mu Galilaaya. 44#Mat 13,57; Mar 6,4; Luk 4,24.Sso nno yennyini yali ajulidde nti: “Omulanzi taba na kitiibwa mu nsi ya boobwe.” 45Bwe yatuuka mu Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga baali balabye byonna bye yakola mu Yeruzaalemu ku mbaga enkulu, kubanga nabo baali bagenze ku mbaga enkulu.
46 #
2,1-11. Awo n'addayo ate e Kana eky'e Galilaaya, amazzi gye yagafuulira evviini. Mu Kafarunawumu waaliyo omukungu eyali alwazizza mutabani we. 47Bwe yawulira nga Yezu avudde mu Buyudaaya n'ajja mu Galilaaya, n'agenda gy'ali n'amwegayirira aserengeteyo awonye mutabani we eyali okumpi n'okufa. 48Yezu n'amugamba nti: “Bwe mutalaba ku bubonero na byamagero, temukkiriza.” 49Omukungu n'amugamba nti: “Ssebo, serengetayo ng'omwana wange tannafa.” 50Yezu n'amugamba nti: “Weddireyo, mutabani wo ajja kulamuka.” Omusajja n'akkiriza ekigambo Yezu ky'amugambye, n'addayo.
51Bwe yali aserengeta, abaweereza be ne bamusisinkana, ne bamubuulira ng'omwana we bwe yalamuse. 52Ye n'ababuuza essaawa mwe yasookedde okuwulira obulungi. Ne bamugamba nti: “Omusujja gwamuta jjo ku ssaawa eyoomusanvu.” 53Awo kitaawe n'ategeera nga ye ssaawa eyo Yezu gye yamugambiramu nti: “Mutabani wo ajja kulamuka.” Naye yennyini n'akkiriza, n'amaka ge gonna. 54Kano ke kabonero akookubiri Yezu ke yakola ng'amaze okudda mu Galilaaya ng'ava mu Buyudaaya.
B. YEZU YEEYOLEKA ENSI
Yezu awonya akonzibye ku Betizata (Betisayida)
Currently Selected:
Yow 4: BIBU1
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.