Amas 2
2
1 #
Okuv 20,8-9; 31,12-17. Bwe kityo eggulu n'ensi ne bimalirizibwa ne nnamunkukumbo waamu yenna. 2Ku lunaku olwomusanvu Katonda yali amalirizza omulimu gwe yali akola, ku lunaku olwomusanvu n'awummula omulimu gwe gwonna gwe yali akola. 3Katonda n'awa omukisa olunaku olwomusanvu, n'alutukuza, kubanga ku olwo yawummula omulimu gwe gwonna ogw'okutonda.
4Kino kye kifaayo ky'eggulu n'ensi lwe byatondebwa.
Okunyumya okwokubiri okw'okutonda: Ennimiro y'e Edeni
#
1,1–2,2a. Omukama Katonda lwe yakola ensi n'eggulu 5waali tewannabaawo kasaka konna ak'ettale ku nsi wadde ekimera kyonna eky'oku nsiko ekyali kitutunuse; anti Omukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi wadde okubaawo omuntu yenna ow'okulima ettaka, 6kyokka ensulo yavanga mu ttaka n'efukirira ku nsi ku ngulu kwonna. 7Awo Omukama Katonda n'abumba omuntu mu nfuufu ey'ettaka, n'afuuwa mu mivubo gy'ennyindo ye omukka ogw'obulamu. Omuntu n'afuuka omwoyo omulamu.
8Omukama Katonda n'asimba ennimiro mu Edeni ku ludda lw'ebuvanjuba. Omwo mwe yassa omuntu gwe yali abumbye. 9Omukama Katonda mu ttaka n'amezaamu buli muti ogusanyusa okulaba nga guwooma n'okulya, mu nnimiro wakati nga mulimu omuti gw'obulamu n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi. 10Omugga gwafulumanga mu Edeni okufukirira ennimiro, bwe gwavanga eyo ne gweyawulamu obugga buna. 11Erinnya ly'akasooka ye Pisoni, ke kaako aketooloola ensi yonna ey'e Kavila erimu zaabu. 12Zaabu w'omu nsi eyo mulungi; eyo osangayo budelliyo#2,12 Budelliyo: Bubaani bwa mu Arabiya; naye era linnya ery'ejjinja ery'omuwendo. n'ejjinja oniki. 13Ate erinnya ly'akagga akookubiri ye Gikoni aketooloola ensi yonna ey'e Kuusi. 14Ate erinnya ly'akagga akookusatu ye Tiguri. Ako kalaga ebuvanjuba wa Assuri. Ko akagga akookuna ye Furaati. 15Omukama Katonda yaddira omusajja,#2,15 Ey'Oluger. etandikira wano omuntu okumuyita Adamu. n'amussa mu nnimiro y'e Edeni, agirime era agikuume. 16Omukama Katonda n'alagira omusajja nti: “Okulya ku muti gwonna ogw'omu nnimiro, ekyo osobola, 17naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako; anti olunaku lwonna lw'oligulyako, oli wa kufa.”
18Omukama Katonda n'agamba nti: “Si kirungi muntu kubeera yekka; nzija kumukolera omuyambi amusaanira.” 19Omukama Katonda ng'amaze okubumba mu ttaka ebisolo byonna eby'omu nsiko n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, yabireetera omusajja#2,19 Ey'Olulatini (Nova Vulgata) etandikira wano omuntu okumuyita Adamu. alabe ky'anaabiyita, buli kiramu kyonna nga bwe yakiyita lye lyafuuka erinnya lyakyo. 20Omusajja n'atuuma amannya ebisolo by'awaka byonna, n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, n'ebisolo byonna eby'ettale; naye temwasangibwamu muyambi asaanira muntu. 21Omukama Katonda ne yeebasa omusajja otulo tungi. Bwe yali yeebase, ku mbiriizi ze n'aggyako lumu, mu kifo kyalwo n'ajjuzaawo omubiri; 22Omukama Katonda n'azimba olubiriizi lwe yali aggye mu musajja n'akolamu omukazi, n'amuleetera omusajja. 23Omusajja n'agamba nti:
“Kati lino lye ggumba ery'omu magumba gange,
omubiri oguvudde mu mubiri gwange;
ono anaayitibwanga ‘mukazi’
kubanga aggyiddwa mu musajja.”
24 #
Mat 19,5; Mar 10,7; 1 Kor 6,16; Ef 5,31. Olw'okubeera ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ku mukazi we; balifuuka omubiri gumu. 25Bombi, omusajja ne mukazi we, baali bwereere, naye nga tebakwataganirwa nsonyi.
B. OKWONOONA KW'OMUNTU
Ekibi kya Adamu ne Eva
Currently Selected:
Amas 2: BIBU1
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.