Olubereberye 4
4
1Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama. 2Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka. 3#Kuv 23:19Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta ebibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda. 4#Kuv 13:12; 34:19,20, Kubal 18:17, Beb 11:4Abiri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye n'amasavu gaazo. Mukama n'akkiriza Abiri ne ky'awaddeyo: 5#Nge 21:27naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka. 6Mukama n'agamba Kayini nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go? 7#Mub 8:12,13, Is 3:10,11Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoomufuganga. 8#Mat 23:35, 1 Yok 3:12, Yud 11Kayini n'ayogera ne Abiri muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta. 9#Yok 8:44Mukama n'agamba Kayini nti Aluwa Abiri muganda wo? N'ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange? 10#Beb 12:24N'ayogera nti Okoze ki? eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi. 11#Kubal 35:33, Ma 27:24Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo; 12bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze. 13Kayini n'agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange tekuyinzika kugumiikirizibwa. 14#Lub 9:6, 2 Bassek 24:20, Zab 51:11Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era naabanga momboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita. 15#Ez 9:4,6Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta.
16 #
2 Bassek 13:23, Yer 23:39 Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni. 17Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we. 18Ne Enoka n'azaala Iradi: Iradi n'azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri: Mesusaeri n'azaala Lameka. 19Lameka n'awasa abakazi babiri; ow'olubereberye erinnya lye Ada, n'ow'okubiri erinnya lye Zira. 20Ada n'azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w'abo abatuula mu weema nga balunda. 21N'erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w'abo abakuba ennanga n'omulere. 22Nate Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. 23Lameka n'agamba bakazi be nti
Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange:
Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange:
Kubanga natta omusajja kubanga yanfumita nze,
Era omuvubuka kubanga yambetenta nze:
24Obanga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu,
Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.
25Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta. 26Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erinnya lya Mukama.
Currently Selected:
Olubereberye 4: LUG68
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.