Olubereberye 2
2
1 #
Kuv 20:11; 31:17, Beb 4:4 Ne biggwa okukola eggulu n'ensi n'eggye lyabyo lyonna. 2Katonda n'amalira ku lunaku olw'omusanvu emirimu gye yakola; n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola. 3Katonda n'awa omukisa olunaku olw'omusanvu n'alutukuza: kubanga olwo lwe yawummuliramu mu mirimu gye gyonna Katonda gye yatonda gye yakola.
4Bwe lityo ezzadde ery'eggulu n'ensi bwe lyatondebwa, ku lunaku Mukama Katonda lwe yakolerako ensi n'eggulu. 5Na buli muti ogw'omu nsiko nga tegunnaba kubeerawo mu nsi, na buli muddo ogw'omu nsiko nga tegunnaba kumera: kubanga Mukama Katonda yali nga tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi, so nga tewali muntu alima ensi; 6naye olufu ne lulinnya okuva mu nsi, ne lutonnya amazzi ku nsi yonna. 7#Lub 3:19; 7:22, Yob 33:4, Mub 11:7, 1 Kol 15:45,47Mukama Katonda n'abumba omuntu n'enfuufu y'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu; omuntu n'afuuka omukka omulamu. 8#Lub 13:10, Is 51:3Mukama Katonda n'asimba olusuku mu Adeni ku luuyi olw'ebuvanjuba; n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba. 9#Lub 1:17; 3:22, Kub 22:2,14Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya; n'omuti ogw'obulamu wakati mu lusuku, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi. 10Omugga ne gusibuka mu Adeni okufukiriranga amazzi mu lusuku; ne gwawukanamu ne gufuuka emitwe ena. 11#Lub 25:18, 1 Sam 15:7Ogw'olubereberye erinnya lyagwo Pisoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavina, erimu zaabu; 12ne zaabu ey'omu nsi eri nnungi: mulimu bedola n'amayinja sokamu. 13N'erinnya ly'omugga ogw'okubiri Gikoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi. 14#Dan 10:4N'erinnya ly'omugga ogw'okusatu Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'omugga ogw'okuna Fulaati. 15Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga. 16Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga: 17naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako: kubanga olunaku lw'oligulyako tolirema kufa.
18Mukama Katonda n'ayogera nti Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n'amukolera omubeezi amusaanira. 19#Lub 1:20,24Mukama Katonda n'akola n'ettaka buli nsolo ey'omu nsiko, na buli ekibuuka waggulu; n'abireetera omuntu, okulaba bw'anaabiyita: n'omuntu buli lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye linnya lyakyo. 20Omuntu n'abituuma amannya buli nsolo n'ekibuuka waggulu na buli nsolo ey'omu nsiko; naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira. 21#Lub 15:12, 1 Sam 26:12Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. 22Mukama Katonda n'azimba olubiriizi, lw'aggye mu muntu, okuba omukazi, n'amuleeta eri omuntu. 23#Lub 29:14, Balam 9:2, 2 Sam 5:1, 1 Kol 11:8, Bef 5:30Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. 24#Mat 19:5, Mak 10:7, 1 Kol 6:16, Bef 5:28-31Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu. 25Bombi baali bwereere, omusajja ne mukazi we, so tebaakwatibwa nsonyi.
Currently Selected:
Olubereberye 2: LUG68
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.