Amas 1
1
I. OKUTONDEBWA KW'ENSI N'OMUNTU
A. OKUTONDA
Okunyumya okusooka okw'okutonda
1 # 2,4b-25; Yob 38,1–39,30. Mu masooka Katonda yatonda eggulu n'ensi;#1,1 Oba: Katonda bwe yasooka okutonda eggulu n'ensi… 2mu nsi temwali kantu, nga njereere, n'enzikiza ng'ebisse ku ngulu ku ddubi n'empewo ya Katonda ng'ekunta ku mazzi.#1,2 Oba: ng'Omwoyo gw'Omukama gwetawulira ku mazzi (laba Okuv 32,11); oba: nga Mwoyo w'Omukama amaamidde (abikkiridde) ku mazzi ; (laba Zab 32,6; 104,30). 3Katonda n'agamba nti: “Wabeerewo ekitangaala.” Ekitangaala ne kibaawo. 4Katonda n'alaba ng'ekitangaala kirungi. Katonda n'ayawula ekitangaala ku nzikiza. 5Ekitangaala n'akiyita misana, ate enzikiza n'agiyita kiro. Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olubereberye.
6Era Katonda n'agamba nti: “Wabeerewo olubaale wakati w'amazzi, lwawule amazzi aga waggulu ku mazzi aga wansi.” 7Katonda n'akola olubaale, amazzi agaali wansi w'olubaale n'agaawula ku ago agaali waggulu w'olubaale; ne kiba bwe kityo. 8Olubaale Katonda n'aluyita ggulu. Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olwokubiri.
9Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu n'olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo. 10Katonda olukalu n'aluyita nsi, ate ekkuŋŋaaniro ly'amazzi n'aliyita nnyanja. Katonda n'alaba nga kirungi. 11Katonda era n'agamba nti: “Ettaka limeze ebimera: omuddo oguleeta ensigo n'emiti egireeta ebibala ku nsi, nga gireeta ebibala omuli ensigo, buli gumu mu mbala yaagwo.” Ne kiba bwe kityo. 12Ettaka ne limeza ebimera: omuddo oguleeta ensigo ey'embala yaagwo, n'emiti egibala ebibala omuli ensigo mu mbala yaagyo. Katonda n'alaba nga kirungi. 13Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olwokusatu.
14Katonda n'agamba nti: “Mu lubaale lw'eggulu wabeerewo ebyaka, byawule emisana n'ekiro, bibeere obubonero okutegeererwa ebiseera by'obudde, ennaku n'emyaka, 15byakire mu lubaale lw'eggulu, bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo. 16Katonda yakola ebyaka ebinene bibiri: ekisingako obunene kifuge emisana, ate ekitono kifuge ekiro, ssaako emmunyeenye. 17Katonda n'abiteeka mu lubaale lw'eggulu byakire ensi 18bifuge emisana n'ekiro, byawule ekitangaala ku nzikiza. Katonda n'alaba nga kirungi. 19Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olwokuna.
20Katonda n'agamba nti: “Amazzi gabune ebitonde ebirimu obulamu, n'ebinyonyi bibuukire ku nsi mu lubaale lw'eggulu.” 21Katonda yatonda agasota aganene n'ebiramu byonna ebibunye mu mazzi mu mbala yaabyo, na buli kinyonyi kya biwaawaatiro mu mbala yaakyo. Katonda n'alaba nga kirungi. 22Katonda n'abiwa omukisa n'agamba nti: “Muzaale, mwale, mujjule amazzi g'ennyanja, n'ebinyonyi byeyongere obungi ku nsi.” 23Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olwookutaano.
24Katonda n'agamba nti: “Ettaka lireete ebiramu mu mbala yaabyo, ebisolo by'awaka, n'ebyewalula, n'ebisolo by'oku nsi mu mbala yaabyo.” Ne kiba bwe kityo. 25Katonda yakola ebisolo by'omu nsiko mu mbala yaabyo, n'ebisolo by'awaka mu mbala yaabyo na buli kyewalula ku ttaka mu mbala yaakyo. Katonda n'alaba nga kirungi.
26Katonda n'agamba nti: “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe ne mu mbala yaffe, bafuge ebyennyanja mu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, ebisolo by'awaka, ssaako n'ebisolo eby'omu nsiko byonna, na buli kyewalula ku ttaka.”
27 #
5,2. Katonda yatonda omuntu mu kifaananyi kye. Yamutonda mu kifaananyi kya Katonda; yabatonda omusajja n'omukazi.
28Katonda n'abawa omukisa, n'abagamba nti: “Muzaale, mwale, mujjuze ensi mugifuge, mufuge ebyennyanja mu nnyanja, n'ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebiramu byonna ebyewalula ku ttaka.” 29Katonda n'agamba nti: “Wuuno mbawadde omuddo gwonna oguleeta ensigo wonna ku nsi n'emiti gyonna egibala ebibala ebireeta ensigo, y'eneebanga emmere yammwe. 30N'ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga na buli kyewalula ku ttaka ekirina obulamu; mbiwadde buli kimera kyonna y'eba ebeera emmere.” Ne kiba bwe kityo. 31Katonda n'alaba byonna bye yali akoze nga wamma birungi nnyo. Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olwomukaaga.
Actualmente seleccionado:
Amas 1: BIBU1
Destacar
Compartir
Copiar
¿Quieres tener guardados todos tus destacados en todos tus dispositivos? Regístrate o inicia sesión
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.