YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 7

7
Mukama avumirira okusiiba okw'obukuusa
1Mu mwaka ogwokuna nga Dariyo ye kabaka, ku lunaku olwokuna olw'omwezi ogw'omwenda, oguyitibwa Kisuleevu, Mukama n'ampa obubaka nze Zekariya.
2Abantu b'e Beteli baali batumye Sarezeeri ne Regemmeleki n'abantu baabwe okwegayirira Mukama abakwatirwe ekisa, 3n'okubuuza bakabona era n'abalanzi ab'omu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye ekibuuzo kino nti: “Twongere okukungubagira okuzikirizibwa kw'Essinzizo, nga tusiiba mu mwezi ogwokutaano nga bwe twakolanga edda?”
4Awo Mukama Nnannyinimagye n'ampa obubaka buno nti: 5“Gamba abantu bonna abali mu nsi eno ne bakabona nti bwe mwasiibanga ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw'omusanvu mu myaka gino ensanvu, temwakikolanga lwa kussaamu nze kitiibwa. 6Era bwe mwalyanga ne bwe mwanywanga, mwakikolanga lwa kwesanyusa mmwe mwennyini.”
7Bino Mukama bye yayogerera mu balanzi ab'edda, mu kiseera Yerusaalemu mwe kyabeerera obulungi nga kijjudde abantu, era abantu mwe baabeerera abangi mu byalo ebikiriraanye, ne mu kitundu eky'omu bukiikaddyo, ne mu nsenyi ez'omu bugwanjuba bwakyo.
Okujeema kwaleetera abantu okuwaŋŋangusibwa
8Awo Mukama n'awa Zekariya obubaka buno nti: 9“Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nawa abantu bange ebiragiro bino nti: ‘Musalenga emisango mu bwenkanya. Buli omu akwatirwenga munne ekisa, era amusaasirenga. 10Mulemenga kunyigiriza bannamwandu ne bamulekwa, wadde abagwira n'abaavu. Era mulemenga kuteesa kukola kabi ku bannammwe.’
11“Naye abantu bange ne beerema, ne bagaana bugaanyi okuwulira. Ne batassaayo mwoyo, 12ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'olwazi, baleme okuwulira amateeka n'ebiragiro, Nze Mukama Nnannyinimagye bye nabawanga, nga mpita mu balanzi ab'edda. Kyennava mbasunguwalira ennyo, 13kubanga baagaana okuwulira bye nayogeranga, nange saabaddangamu bwe banneegayiriranga. 14Ng'embuyaga ey'amaanyi, nabasaasaanya mu mawanga gonna ge baali batamanyi, ensi eno ennungi eyeegombebwa ne bagireka awo, n'efuuka matongo, nga tewakyali agibeeramu.”

Currently Selected:

ZEKARIYA 7: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in