YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 4

4
Ekikondo ky'ettaala
1Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa, nga bwe bazuukusa omuntu ali mu tulo. 2N'aŋŋamba nti: “Olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ekikondo ky'ettaala ekya zaabu, n'ekibya ekiri waggulu ku kyo. Ku kikondo ekyo kuliko ettaala musanvu, nga buli ttaala eriko entambi musanvu. 3Ku mabbali gaakyo, waliwo emiti emizayiti#4:3 emiti emizayiti: Oba “Emiti egya oliva.” ebiri, gumu ku buli ludda.”#Laba ne Kub 11:4 4Olwo ne mbuuza malayika nti: “Mukama wange, ebyo bitegeeza ki?”
5Malayika oyo n'ambuuza nti: “Tomanyi ebyo kye bitegeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.”
6Awo n'aŋŋamba okutwalira Zerubabbeeli obubaka buno obuva eri Mukama Nnannyinimagye, obugamba nti nti: “Oliwangula, si lwa kuba ng'oli wa maanyi mu kulwana, wadde ow'obuyinza, naye lwa mwoyo gwange.#Laba ne Ezer 5:2 7Ebizibu ebigulumivu ng'olusozi, birivaawo mu maaso go. Olizimba Essinzizo obuggya, era bw'oliba ozimbako ejjinja erimaliriza, abantu balireekaana nti: ‘Nga ddungi, nga ddungi!’ ”
8Era ne nfuna obubaka obulala obuva eri Mukama nga bugamba nti: 9“Zerubabbeeli ataddewo omusingi gw'Essinzizo, era alirizimba n'alimaliriza. Olwo abantu bange balitegeera nga Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze nakutuma gye bali, 10kubanga ababadde baterebuse olw'okulaba ng'ekikolebwa kitono, balisanyuka bwe baliraba nga Zerubabbeeli azimba Essinzizo.”
Malayika oyo era n'aŋŋamba nti: “Ettaala omusanvu ge maaso ga Mukama, agalaba wonna ku nsi.”#Laba ne Kub 5:6 11Awo ne mmubuuza nti: “Emiti emizayiti gino ebiri egiri ku buli ludda lw'ekikondo ky'ettaala, gitegeeza ki?#Laba ne Kub 11:4 12Era amatabi gano abiri ag'emizayiti agali ku mabbali g'enseke ebbiri eza zaabu, omuyita omuzigo ogw'emizayiti, gategeeza ki?”
13N'ambuuza nti: “Tomanyi kye gategeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.” 14Awo n'agamba nti: “Amatabi ago be bantu ababiri, Mukama w'ensi zonna be yalonda, n'abafukako omuzigo, okumuweerezanga.”

Currently Selected:

ZEKARIYA 4: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in