YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 2

2
Omuguwa ogugera
1Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omuntu akutte omuguwa ogugera. 2Ne mbuuza nti: “Ogenda wa?” N'anziramu nti: “Okugera Yerusaalemu, ndyoke ndabe bwe kyenkana obuwanvu n'obugazi.”
3Awo malayika eyali ayogera nange, bwe yali ng'agenda, malayika omulala n'ajja okumusisinkana, 4n'amugamba nti “Dduka ogambe omuvubuka oyo akutte omuguwa ogugera, nti Yerusaalemu kiribaamu abantu abatagya mu kigo, kubanga baliba bangi era n'amagana mangi. 5Mukama agamba nti ye yennyini ye aliba ekigo eky'omuliro okwetooloola ekibuga, era nti anaakibeerangamu mu kitiibwa kye kyonna.”
Abali mu buwaŋŋanguse bayitibwa okudda
6Mukama n'agamba abantu be nti: “Musituke, musituke, muve mu nsi ey'omu bukiikakkono! Nabasaasaanyiza buli wantu, ng'empewo ennya ez'eggulu. 7Musituke, mudduke muve mu batuuze b'e Babilooni, mudde mu Siyooni. 8Buli akoona ku mmwe aba akoonye ku mmunye ya liiso lyange.”
Mukama Nnannyinimagye, eyantuma olw'ekitiibwa kye, bino by'agamba amawanga agaanyaga abantu be. Agamba nti: 9“Mukama yennyini ye alibalwanyisa mmwe, era abantu abaali abaddu bammwe, balibanyaga mmwe.”
Ekyo bwe kirituukirira, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma.
10Mukama agamba nti: “Muyimbe olw'essanyu mmwe abantu b'omu Yerusaalemu, kubanga nzija, mbeerenga wamu nammwe.”
11Mu kiseera ekyo, ab'omu mawanga mangi balijja eri Mukama, ne bafuuka bantu be. Mukama Nnannyinimagye anaabeeranga wamu nammwe, era mmwe mulitegeera nga ye yantuma gye muli. 12Buyudaaya eriba ya Mukama mu ngeri ey'enjawulo, mu nsi ye entukuvu, era Yerusaalemu kiriddamu okuba ekibuga kyayo kye yeeroboza.
13Musirike mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.

Currently Selected:

ZEKARIYA 2: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in