YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 11

11
Okugwa kw'abafuzi abakambwe
1Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,
omuliro gwokye emivule gyo.#11:1 Emivule: Gikozeseddwa ng'akabonero akategeeza amawanga ag'amaanyi, oba abafuzi baago.
2Mukube ebiwoobe mmwe emiberosi,
kubanga emivule gigudde,
emiti emirungi ennyo gizikiriziddwa!
Mukube ebiwoobe mmwe emyera gy'e Basani!
Kubanga ekibira ekiwanvu kitemeddwa.
3Abafuzi bakuba ebiwoobe
kubanga ekitiibwa kyabwe kizikiriziddwa!
Empologoma zisindogoma,
kubanga ebisaka mwe zisula
eby'omu Yorudaani bizikiriziddwa.
Abasumba ababiri
4Mukama Katonda wange yaŋŋamba nti: “Lunda#11:4 lunda: “Okulunda” kitegeeza okulabirira oba okukulembera. “Endiga” zitegeeza abantu oba abagoberezi. endiga ez'okuttibwa. 5Abazigula, bazitta ne batabonerezebwa. Batunda ennyama, ne bagamba nti: ‘Mukama atenderezebwe, kubanga tugaggawadde.’ Abasumba baazo nabo bennyini tebazisaasira.”
6Mukama agamba nti: “Sirisaasira nate muntu n'omu ku nsi. Ndiwaayo abantu bonna mu buyinza bw'abafuzi baabwe. Abafuzi abo balibonyaabonya ensi, era siriginunula mu buyinza bwabwe.”
7Abasuubuzi b'endiga banfuula omusumba, ne nnunda endiga ez'okuttibwa. Ne nkwata emiggo ebiri. Ogumu ne ngutuuma erinnya “Mukisa”. Omulala ne ngutuuma erinnya “Kwegatta”, ne nnunda endiga. 8Ne neetamwa abasumba abalala basatu abankyawa, ne mbagoba mu mwezi gumu. 9Awo ne ŋŋamba endiga nti: “Sikyabalunda. Ezo ezinaafa, zife. Ezinaazikirizibwa, zizikirizibwe. Ezo ezinaasigalawo ziryaŋŋane.”
10Awo ne nkwata omuggo gwange oguyitibwa “Mukisa”, ne ngumenyamu, okumenyawo endagaano, Mukama gye yakola n'amawanga gonna. 11Endagaano n'emenyebwawo ku lunaku olwo. Awo abasuubuzi b'endiga abaali bantunuulira, ne bategeera nga Mukama yali ayogerera mu ebyo bye nkoze. 12Ne mbagamba nti: “Oba mwagala, mumpe empeera yange. Oba temwagala, mugisigaze.” Ne bansasula ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, nga ye mpeera yange.#Laba ne Mat 26:15#Laba ne Mat 27:9-10
13Mukama n'aŋŋamba nti: “Bisuulire omubumbi.”#11:13 Bisuulire omubumbi: Kye kiri mu Lwebureeyi naye mu biwandiiko ebimu eby'enzivuunula ey'edda “Bisuule mu ggwanika ly'Essinzizo.” Ne ntwala ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, omuwendo gwe baalamula nti gwe gungyaamu, ne mbisuula mu ggwanika ly'Essinzizo. 14Awo ne mmenyamu omuggo ogwokubiri oguyitibwa “Kwegatta”, okwegatta kwa Buyudaaya ne Yisirayeli ne kuggwaawo.
15Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ddamu okukola omulimu gw'obusumba. Naye ku mulundi guno, okole ng'omusumba atagasa, 16kubanga nteekawo omusumba anaalundanga endiga, naye taalabirirenga ezo ezigenda okutuukibwako akabi, wadde okunoonya ezo ezibuze. Era tajjanjabenga ezo ezirwadde, wadde okuliisa ezo ennamu, wabula anaalyangamu ezo ezassava, era alizinuulako ebinuulo.
17Zimusanze omusumba atagasa,
ayabulira endiga!
Ekitala kifumite omukono gwe,
n'eriiso lye erya ddyo!
Omukono gwe gukale,
n'eriiso lye erya ddyo
lizibire ddala!”

Currently Selected:

ZEKARIYA 11: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in