MARIKO 6:41-43
MARIKO 6:41-43 LB03
Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso eri eggulu, ne yeebaza Katonda. N'amenyaamenya mu migaati, n'agiwa abayigirizwa be bagigabire abantu. Era n'ebyennyanja ebibiri n'abimenyaamenyamu, bonna ne bafuna. Buli muntu n'alya n'akkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya ebitundutundu by'emigaati n'eby'ebyennyanja ebyasigalawo, ne bijjuza ebibbo kkumi na bibiri.