YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO 3

3
Yesu awonya omuntu ow'omukono ogukaze
(Laba ne Mat 12:9-14; Luk 6:6-11)
1Awo Yesu n'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro. Era omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze. 2Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamwekaliriza amaaso, balabe oba anaawonya omuntu oyo ku Sabbaato, balyoke bagende bawaabe. 3Yesu n'agamba ow'omukono ogukaze nti: “Situka, oyimirire wano, bonna we bayinza okukulabira.” 4Awo n'abuuza abaaliwo nti: “Kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba kukola bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?” Naye bo ne ba sirika busirisi. 5Yesu n'abeebunguluza amaaso ng'abasunguwalidde, era nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu oyo nti: “Wamma golola omukono gwo.” N'agugolola, ne guwonera ddala. 6Amangwago, Abafarisaayo ne bafuluma, ne beetaba wamu n'abawagizi ba Herode, bateese nga bwe banaazikiriza Yesu.
Abantu bakuŋŋaanira ku lubalama lw'Ennyanja
7Awo Yesu n'alaga ku lubalama lw'ennyanja wamu n'abayigirizwa be. Abantu bangi ne bamugoberera, nga bava mu Galilaaya ne mu Buyudaaya, 8ne mu kibuga Yerusaalemu, ne mu kitundu ky'e Yidumeya, n'emitala w'Omugga Yorudaani, ne mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni. Bano bonna bajja gy'ali, kubanga baali bawulidde by'akola. 9Olw'abantu okuyitirira obungi, Yesu n'alagira abayigirizwa be bategekewo eryato limubeere kumpi, sikulwa ng'ekibiina ky'abantu kimunyigiriza.#Laba ne Mak 4:1; Luk 5:1-3 10Yabalagira okukola kino kuba, nga bwe yali awonyezza abantu abangi, abalwadde bonna baali beenyigiriza, basobole okumutuukirira, bamukwateko. 11Abantu abaliko emyoyo emibi bwe baamulabangako, ne bagwa wansi mu maaso ge, ne baleekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!” 12Kyokka Yesu n'agaanira ddala emyoyo emibi okumwatuukiriza.
Yesu alonda abatume ekkumi n'ababiri
(Laba ne Mat 10:1-4; Luk 6:12-16)
13Awo Yesu n'alaga mu kitundu eky'ensozi, n'ayita abo be yalondamu. Ne bajja w'ali, 14n'ayawulako kkumi na babiri, babeerenga wamu naye, era abatumenga okubunyisa obubaka bwe. 15N'abawa n'obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu.
16Ekkumi n'ababiri be yayawulako be bano: Simooni, gwe yayongerako erya Peetero; 17batabani ba Zebedaayo: Yakobo ne Yowanne, be yayongerako erya “Bowaneruge” (ekitegeeza nti: “Ababwatuka nga laddu”), 18ne Andereya, ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Taddaayo, ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye, 19ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe.
Yesu ne Beeluzebuli
(Laba ne Mat 12:22-32; Luk 11:14-23; 12:10)
20Awo Yesu n'ayingira mu nnyumba. Abantu bangi ne baddamu okukuŋŋaanira w'ali. Ye n'abayigirizwa be ne babulwawo n'akaseera okulya emmere. 21Ababe bwe baawulira, ne bagenda okumukwata, kubanga baali bagamba nti: “Alaluse?”
22Abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, ne bagamba nti: “Aliko Beeluzebuli omukulu w'emyoyo emibi, era akozesa buyinza bwa Beeluzebuli oyo okugigoba ku bantu.”#Laba ne Mat 9:34; 10:25
23Awo Yesu n'ayita abantu, n'abagamba mu ngero nti: “Sitaani ayinza atya okugoba Sitaani ku bantu? 24Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu, ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. 25Ne mu maka, abantu baamu bwe batategeeragana, baawukana, amaka ago ne gasasika. 26Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obuyinza bwe ne bwawukanamu, aba takyaliwo, ng'azikiridde.
27“Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu wa maanyi n'anyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kumusiba, olwo n'alyoka anyaga eby'omu nnyumba ye.
28“Mazima mbagamba nti: abantu bayinza okusonyiyibwa ebibi byonna, era bayinza okusonyiyibwa okwogera obubi mu ngeri yonna. 29Naye buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa, wabula aba akoze ekibi ky'asigala nakyo emirembe gyonna.”#Laba ne Luk 12:10 30Kino Yesu yakyogera okuddamu abo abaali bagambye nti aliko omwoyo omubi.
Baganda ba Yesu ne nnyina
(Laba ne Mat 12:46-50; Luk 8:19-21)
31Awo baganda ba Yesu ne nnyina, ne bajja gy'ali, ne bayimirira wabweru, ne bamutumira nga bamuyita. 32Ekibiina ky'abantu kyali kitudde nga kimwetoolodde, ne bamugamba nti: “Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru, baagala okukulaba.”
33Yesu n'abaddamu nti: “Baba bantu ba ngeri ki be mpita mmange ne baganda bange?” 34Awo ne yeebunguluza amaaso abantu abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano. 35Buli akola Katonda by'ayagala, ye aba muganda wange, ye aba mwannyinaze, ye aba mmange.”

Currently Selected:

MARIKO 3: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in