YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 22

22
Olugero lw'embaga ey'obugole
(Laba ne Luk 14:15-24)
1Awo Yesu n'addamu okwogera n'abantu ng'akozesa engero, n'agamba nti: 2“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyateekerateekera omwana we embaga ey'obugole. 3N'atuma abaddu be okutegeeza abaayitibwa ku mbaga, nti: ‘Mujje.’ Naye bo ne bagaana okujja.
4“N'atuma nate abaddu abalala ng'agamba nti: ‘Mugambe abaayitibwa nti: Embaga yange ewedde okuteekateeka. Ente zange n'ebyassava ebirala bittiddwa. Era buli kintu kiwedde okutegeka. Mujje ku mbaga ey'obugole.’
5“Naye abaayitibwa ne batafaayo. Omu n'alaga mu kyalo kye, omulala mu by'amaguzi bye. 6Ate abalala ne bakwata abaddu be ne babayisa bubi, era ne babatta. 7Kabaka n'asunguwala, n'asindika eggye lye, n'azikiriza abassi abo, era n'ayokya ekibuga kyabwe. 8Awo n'agamba abaddu be nti: ‘Embaga ey'obugole ewedde okuteekateeka. Naye abo abaayitibwa tebasaanira. 9Kale mulage mu masaŋŋanzira, bonna be munaalaba mubayite ku mbaga ey'obugole.’ 10Abaddu ne balaga mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baasanga, ababi n'abalungi. Ekisenge eky'embaga ey'obugole ne kijjula abagenyi.
11“Awo kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya mbaga ya bugole. 12Kabaka n'amugamba nti: ‘Munnange, oyingidde otya muno nga toyambadde kyambalo kya mbaga ya bugole?’ Ye n'asirika. 13Awo kabaka n'agamba abaweereza nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’ ”#Laba ne Mat 8:12; 25:30; Luk 13:28
14Awo Yesu n'amaliriza ng'agamba nti: “Bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.”
Ebifa ku kuwa omusolo
(Laba ne Mak 12:13-17; Luk 20:20-26)
15Awo Abafarisaayo ne bagenda, ne bateesa nga bwe banaatega Yesu mu bigambo. 16Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'abawagizi ba Herode, ne bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu. 17Kale nno ssebo, tubuulire, olowooza otya? Kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa?”
18Kyokka Yesu n'ategeera enkwe zaabwe, n'agamba nti: “Bakuusa mmwe, lwaki munkema? 19Mundage essente ey'omusolo.”
Ne bamuleetera essente. 20N'ababuuza nti: “Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?”
21Ne bamuddamu nti: “Bya Kayisaari.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Kale nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
22Bwe baawulira ebyo, ne beewuunya nnyo, ne bamuleka, ne bagenda.
Ebifa ku kuzuukira
(Laba ne Mak 12:18-27; Luk 20:27-40)
23Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu.#Laba ne Bik 23:8 24Ne bagamba nti: “Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Singa omuntu afa, n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’#Laba ne Ma 25:5
25“Kale ewaffe waaliyo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa. N'afa nga tazadde mwana. Mukazi we n'amulekera muganda we. 26Ekintu kye kimu ekyatuuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w'omusanvu. 27Oluvannyuma, bonna nga bamaze okufa, omukazi naye n'afa. 28Kale ku lunaku olw'amazuukira, omukazi oyo aliba muk'ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.”
29Awo Yesu n'abaddamu nti: “Muwubwa olw'obutamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda. 30Kubanga abantu bwe balizuukira, baliba nga bamalayika mu ggulu: nga tebakyawasa, era nga tebakyafumbirwa.
31“Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, temusomangako ekyo Katonda kye yabagamba? Yagamba nti: 32‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Katonda si wa bafu, wabula wa balamu.”#Laba ne Kuv 3:6
33Abantu bwe baawulira ebyo, ne beewuunya okuyigiriza kwe.
Ekiragiro ekikulu
(Laba ne Mak 12:28-34; Luk 10:25-28)
34Awo Abafarisaayo bwe baawulira nti Yesu asirisizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaana. 35Omu ku bo, omunnyonnyozi w'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti:#Laba ne Luk 10:25-28 36“Muyigiriza, kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?”
37Yesu n'amuddamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna.#Laba ne Ma 6:5 38Ekyo kye kiragiro ekikulembera byonna, era ekisinga obukulu. 39Ekiragiro ekiddirira ekyo mu bukulu, era ekikifaanana, kye kino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.’#Laba ne Leev 19:18 40Ku biragiro bino byombi, Amateeka gonna n'ebyawandiikibwa abalanzi kwe byesigamye.”
Kristo ne Dawudi
(Laba ne Mak 12:35-37; Luk 20:41-44)
41Awo Abafarisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza nti: 42“Mulowooza mutya ku Kristo? Muzzukulu w'ani?” Ne bamuddamu nti: “Muzzukulu wa Dawudi.”
43Yesu n'ababuuza nti: “Kale lwaki Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, amuyita Mukama we? Agamba nti:
44‘Katonda yagamba Mukama wange nti:
Tuula ng'onninaanye
ku ludda lwange olwa ddyo,
okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
ekirinnyibwako ebigere byo.’#Laba ne Zab 110:1
45“Kale oba nga Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?” 46Ne watabaawo ayinza kumuddamu kigambo. Era okuva olwo tewaaliwo muntu yaguma kwongera kumubuuza kibuuzo.

Currently Selected:

MATAYO 22: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in