OLUYIMBA LW'ABAVUBUKA ABASATU 1
1
Okusaba kwa Azariya
1Awo abavubuka abasatu, Ananiya, Misayeli ne Azariya ne batandika okutambula nga beetooloola mu nnimi z'omuliro, nga bwe bayimbira Katonda ennyimba n'okumutendereza nti ye Mukama.#Laba ne Dan 3:23 2Azariya n'ayimirira mu muliro wakati n'asaba bw'ati:
3“Otenderezebwe ayi Katonda wa bajjajjaffe. Erinnya lyo lisaanira ettendo n'ekitiibwa emirembe gyonna, 4kubanga oli mwenkanya mu byonna bye watukola. Byonna bye wakola bya mazima. Amakubo go gonna meesimbu. Ennamula yo yonna ya bwenkanya. 5Omusango gwe wasalira Yerusaalemu, ekibuga kya bajjajjaffe, wagusala mu bwenkanya. Era wali mutuufu okugutusingisa olw'ebibi byaffe. 6Twakujeemera ne tukukuba amabega. Twakola ebibi ebya buli ngeri. 7Tetwakwata biragiro byo, era tetwabikolerako. Singa twatuukiriza by'otulagira, twandibadde bulungi. 8Naye kaakano tusaanira omusango gwe watusalira, era n'ekibonerezo kye watuwa. 9Watuwaayo mu mikono gy'abalabe baffe ababi, era abaayonoonekera ddala. Watuwaayo mu mikono gya kabaka asingirayo ddala okuba omubi mu nsi. 10Era kaakano ffenna abaweereza bo abakusinza tuswadde era tusobeddwa, tetuguma na kwasamya kamwa kaffe kwogera.
11“Naye olw'ekitiibwa kyo tomenyawo ndagaano gye wakola naffe, era totwabulira kagenderere. 12Tolekera awo kutukwatirwa kisa. Tuukiriza bye wasuubiza Aburahamu gwe wayagala, Yisaaka omuweereza wo, ne Yisirayeli omutukuvu wo. 13Wabasuubiza okubawa abazzukulu abangi ng'emmunyeenye ku ggulu oba ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja. 14Naye kaakano Mukama tusigadde batono okusinga ab'eggwanga eddala lyonna. Buli we tubeera, tutoowazibwa olw'ebibi byaffe. 15Tetulina kabaka, tetulina mulanzi wadde omukulembeze. Tetukyalina Ssinzizo mwe tukuweera bitambiro, n'ebiweebwayo, n'obubaane n'ebirabo eby'amakungula agasooka, tusobole okukusanyusa otukwatirwe ekisa. 16Naye tuzze n'emitima egyenenyezza, n'emyoyo egyetoowazizza, otusiime nga bwe wanditusiimye nga tuzze n'ebitambiro eby'endiga n'ente eza sseddume, n'enkumi n'enkumi ez'endiga ento. 17Olwaleero okwenenya kwaffe kwe kuba kubeera ekitambiro ky'osiima, kubanga abakwesiga tobaleka kuswala. 18Kaakano tujja kukuwuliranga n'omutima gwaffe gwonna. Tunaakutyanga era tunaakusabanga otuyambe. 19Totuleka kuswala, naye tulage nga bw'oli omulungi ow'ekisa. 20Ayi Mukama, tununule ng'okola ebyewuunyisa, oweese erinnya lyo ekitiibwa. 21Abo bonna abayigganya abaweereza bo, baswale. Baggyeeko obuyinza, omenyewo amaanyi gaabwe, 22balyoke bamanye nti ggwe wekka ggwe Mukama Katonda, era ggwe weekitiibwa mu nsi yonna.”
23Abaweereza ba kabaka abaali basudde abavubuka abasatu mu kabiga k'omuliro, baali tebaweera mu kulabirira omuliro gwake nnyo nga bongeramu omuzigo, amafuta, obugoogwa n'enku enkalu. 24Ennimi z'omuliro ne zisituka mita ezisoba mu makumi abiri okuva ku kabiga. 25Ne gulanda n'okulanda, ne gwokya Abababilooni abaali bayimiridde okumpi n'akabiga. 26Naye malayika wa Mukama n'akka mu muliro abavubuka abasatu we bali,#Laba ne Tob 5:4 27n'agobawo ennimi z'omuliro, ne waba ng'awafuuyibwa empewo empeweevu, omuliro ne gutatuuka ku bavubuka n'akatono, wadde okubalumyako mu ngeri yonna.
Oluyimba lw'abavubuka abasatu
28Awo abavubuka abasatu
ne batandika okuyimbira awamu nga batendereza Katonda,
nga bagamba nti:
29“Otenderezebwe ayi Mukama
ggwe Katonda wa bajjajjaffe
30Erinnya lyo ettukuvu litenderezebwe,
liweebwenga ekitiibwa
emirembe n'emirembe.
31Otenderezebwe mu Ssinzizo lyo ettukuvu
ekitiibwa kyo mwe kirabikira,
ogulumizibwe emirembe n'emirembe
32Otenderezebwe ku ntebe yo ey'obwakabaka,
ogulumizibwe emirembe n'emirembe.
33Ggwe atuula ku bakerubi
n'otunuulira amagombe,
otenderezebwe emirembe n'emirembe.
34Otenderezebwe mu bbanga ery'eggulu,
ogulumizibwe emirembe n'emirembe.
35“Ebitonde byonna mutendereze Mukama,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
36Ggwe eggulu tendereza Mukama,
mutendereze omugulumize
emirembe n'emirembe.
37Mutendereze Mukama
mmwe bamalayika be,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
38Mutendereze Mukama mmwe amazzi
agali waggulu w'eggulu,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
39Mutendereze Mukama
mmwe obuyinza bw'omu ggulu bwonna,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
40Mutendereze Mukama
mmwe enjuba n'omwezi,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
41Mutendereze Mukama
mmwe emmunyeenye ez'oku ggulu,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
42Mutendereze Mukama
mmwe enkuba n'omusulo,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
43Mutendereze Mukama
mmwe embuyaga zonna,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
44Mutendereze Mukama
mmwe omuliro n'ebbugumu,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
45Mutendereze Mukama
mmwe obunnyogovu n'obutiti,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
46Mutendereze mmwe omusulo n'omuzira,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
47Mutendereze Mukama
mmwe ebiro n'ennaku,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
48Mutendereze Mukama
mmwe ekitangaala n'ekizikiza,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
49Mutendereze Mukama
mmwe omuzira n'obunnyogovu,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
50Mutendereze Mukama mmwe
amayinja n'ebitole eby'omuzira
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
51Mutendereze Mukama
mmwe okumyansa n'ebire,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
52“Ensi etendereze Mukama,
emutendereze era emugulumize
emirembe n'emirembe.
53Mutendereze Mukama
mmwe ensozi n'obusozi,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
54Mutendereze Mukama mmwe
ebimera ebiri ku nsi,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
55Mutendereze Mukama
mmwe ennyanja n'emigga,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
56Mutendereze Mukama
mmwe ensulo z'amazzi,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe
57Mutendereze Mukama
mmwe agasolo ag'omu nnyanja,
nammwe ebitonde eby'omu mazzi byonna,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
58Mutendereze Mukama
mmwe ebinyonyi byonna,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe
59Mutendereze Mukama
mmwe ebisolo byonna
ebifuge n'eby'omu ttale,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
60“Mutendereze Mukama
mwenna abantu abali ku nsi,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
61Mutendereze Mukama
mmwe abantu ba Yisirayeli,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
62Mutendereze Mukama
mmwe bakabona ba Mukama,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
63Mutendereze Mukama
mmwe abaweereza ba Mukama,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
64Mutendereze Mukama
mmwe mwenna abeesigwa,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
65Mutendereze Mukama
mmwe abeetoowaze era abatukuvu,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
66Mutendereze Mukama
mmwe Hananiya, Azariya ne Misayeli,
mumutendereze era mumugulumize
emirembe n'emirembe.
Yatuggya emagombe n'atuwonya okufa,
yatufulumya mu kabiga
k'omuliro ogubugujja,
n'agutuwonya obutatwokya.
67Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
era ekisa kye kya mirembe gyonna.
68Mutendereze Mukama mwenna abamusinza,
mutendereze Katonda alina obuyinza
ku balubaale, mumwebaze,
kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
Currently Selected:
OLUYIMBA LW'ABAVUBUKA ABASATU 1: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.