YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 2

2
1Mukama agamba nti: ‘‘Naggya abantu bange mu buddu e Misiri, ne mbawa ebiragiro byange, nga mbiyisa mu baweereza bange abalanzi. Naye bo ne bagaana okuwulira, ne batafa ku bye mbayigiriza. 2Yerusaalemu nnyaabwe eyabazaala abagamba nti: ‘Baana bange, mugende, kubanga nze ndi nnamwandu era nsigadde bw'omu.#Laba ne Yis 54:1; Bag 4:26-27; Bar 4:19 3Nabakuza nga nsanyuka, naye kati nnakuwadde era nkaaba okubafiirwa, kubanga mwayonoona mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga mukola ebibi. 4Nga bwe ndi nnamwandu alekeddwa obwomu, nnaabakolera ki? Baana bange, mugende musabe Mukama abakwatirwe ekisa.’
5‘‘Ggwe kitaabwe Ezera, nkusaba obalumirize nga nnyaabwe bw'akoze, kubanga bagaanye okukuuma endagaano yange. 6Batabuletabule era ozikirize nnyaabwe, baleme kuba na zzadde. 7Basaasaanyizibwe mu mawanga, wabulewo abajjukira ku nsi, kubanga baanyooma endagaano yange.
8‘‘Ggwe Assiriya, zirikusanga, kubanga wakkiriza abantu ababi! Ggwe eggwanga eryonoonyi, jjukira kye nakola Sodoma ne Gomora.#Laba ne Nta 19:24 9Kaakano ensi yaabwe ebikkiddwa ebitole by'ebisiriiza n'entuumu z'evvu. Bwe ntyo bwe nkola abanjeemera.”
10Bino Mukama by'agamba Ezera nti: ‘‘Langirira eri abantu bange abaggya nti ndibawa obwakabaka bwa Yerusaalemu, bwe nali mpadde Yisirayeli. 11Ndiggya ekitiibwa kyange mu Yisirayeli ne mpa abantu bange abaggya Essinzizo ery'olubeerera, lye nali ntegekedde Yisirayeli. 12Omuti ogw'obulamu gulibawunyira akawoowo. Tebaateganenga, era tebaakoowenga.#Laba ne Kub 2:7; 22:2,14 13Musabe mulifuna. Mwegayirire, ennaku ze mulindirira zikendeezebweko. Ne kaakano obwakabaka bubateekeddwateekeddwa. Kale musigale nga mweteeseteese.#Laba ne Mat 7:7-8; 25:34 14Muyite eggulu n'ensi okuba abajulirwa, nti nze Katonda Nnannyinibulamu, nzigyewo ebibi, ne nteekawo ebirungi.
15‘‘Ggwe Yerusaalemu nnyina w'abaana bo, basitule mu mikono gyo, obalabirire n'essanyu, ng'enjiibwa bw'erabirira abaana baayo. Nze Mukama, nze nkulonze. 16Ndizuukiza abafu bo ne mbaggya mu ntaana zaabwe, kubanga mbamanyi nga bantu bange. 17Ggwe Yerusaalemu nnyina w'abantu bano, totya, kubanga nze Mukama, nze nkulonze.
18‘‘Ndituma abaweereza bange Yisaaya ne Yeremiya bakuyambe. Be bansaba ne nkuteekerateekera emiti kkumi n'ebiri egijjudde ebibala ebya buli ngeri,#Laba ne Kub 22:2 19enzizi kkumi na bbiri, ezikulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, ne nkuteekerateekera n'ensozi empanvu musanvu ezibikkiddwa ebimuli bya looza n'amalanga. Eyo gye ndiweera abaana bo essanyu eringi. 20Kaakano ggwe Yerusaalemu taasa bannamwandu, lwanirira abatalina bakitaabwe, gabira abaavu, kuuma bamulekwa, yambaza abayita obwereere, 21labirira abayongobevu n'abanafu. Tosekereranga balema, kuuma abateeyinza, yamba bamuzibe balabe okutangalijja kw'ekitiibwa kyange. 22Kuumanga bulungi abakulu n'abato mu bisenge byo. 23Bw'olabanga omuntu afudde, omuziikanga, n'oteeka akabonero ku ntaana. Olwo ndikuwa ekifo ekyekitiibwa bwe ndizuukiza abafu.#Laba ne Tob 1:17-19
24‘‘Bantu bange, mubenga bateefu, kubanga ekiseera kyammwe eky'okuwummula kirituuka. 25Mulabirirenga bulungi abaana bammwe, ng'omulezi omulungi bw'akola, mubakwasenga amakubo amalungi, 26waleme kubaawo n'omu ku bo abula. Ekiseera bwe kirituuka, ndibababuuza mmwe.#Laba ne Yow 17:12 27Temweraliikiriranga, bwe walibaawo obuyinike n'obuzibu, abalala be balikaaba ne bakungubaga, naye mmwe mulisanyuka era muligaggawala. 28Amawanga amalala galibakwatirwa obuggya, naye tebalisobola kubakola kabi.
29‘‘Ndibakuuma mmwe n'obuyinza bwange, ne mponya abaana bammwe amagombe. 30Ggwe Yerusaalemu nnyina w'abaana, sanyuka wamu n'abaana bo, kubanga nze Mukama ndibadduukirira. 31Jjukira abaana bo abagalamidde mu ntaana. Nze Mukama Omuyinzawaabyonna, ndi musaasizi. Ndibaggyayo gye bakwekeddwa mu ttaka. 32Lera bulungi abaana bo okutuusa lwe ndijja, era bategeeze ku kisa kyange n'okusaasira kwange, ebiri ng'ensulo y'amazzi etekalira.”
Ezera ku Lusozi Sinaayi
33Nze Ezera, nali ku Lusozi Sinaayi, Mukama n'andagira okugenda eri abantu ba Yisirayeli. Naye bwe natuuka gye bali, ne bangoba era ne bagaana okuwulira ebyo Mukama bye yandagira. 34Kyenva njogera nammwe ab'amawanga amalala, abeetegese okuwulira n'okutegeera. Mbagamba nti: ‘‘Mulindirire Omusumba abalabirira, ali kumpi okujja ku nkomerero y'ensi, okubawa ekiwummulo ekyolubeerera. 35Mweteeketeeke okufuna ebirungi mu bwakabaka, kubanga ekitangaala ekyolubeerera kyammwe emirembe gyonna. 36Mudduke ekizikiza ky'ensi eno, mufune ekitiibwa ekisanyusa, ekyabateekerwateekerwa. Nze nkakasa mu lwatu eby'Omulokozi wange. 37Mukama ye yamuteekawo. Kale mumukkirize era musanyuke. Mwebaze Katonda abayise mu bwakabaka bwe obw'omu ggulu. 38Muyimirire mulabe ekibiina ky'abo Mukama b'ataddeko akabonero, abagabana ku kijjulo kye. 39Baaleka ekizikiza ky'ensi eno, ne bafuna engoye enjeru ezitemagana, Mukama ze yabawa. 40Kale kaakano ggwe Yerusaalemu yaniriza abantu bano abakuumye Amateeka ga Mukama, olyoke ojjuze omuwendo gw'abo Katonda b'akuwadde. 41Omuwendo gw'abaana bo gw'omaze ebbanga eggwanvu nga weetaaga guweze. Kale saba obwakabaka bwa Mukama bujje, n'abantu bo, Katonda be yalondamu nga tannatonda nsi, bafuuke batukuvu.”
Ezera ku Lusozi Siyooni
42Nze Ezera, nalaba ku Lusozi Siyooni ekibiina ky'abantu abangi abatabalika, nga bonna bayimba era nga batendereza Mukama.#Laba ne Kub 7:9 43Wakati waabwe waali wayimiriddewo omuvubuka omuwanvu ennyo, ng'asinga abalala bonna obuwanvu. Yagendanga atikkira engule ku mutwe gwa buli omu ku bo, naye nga bonna abasooloobyemu. 44Bwe nalaba abo, ne mpuniikirira, ne mbuuza malayika nti: ‘‘Bano be baani, Ssebo?”
45N'addamu nti: ‘‘Bano be bantu abeeyambulamu ebyambalo byabwe ebifa, ne bambala ebyambalo ebitafa. Baayatula nga bwe bakkiriza Katonda, kaakano baweebwa engule n'amatabi g'enkindu, akabonero ak'obuwanguzi.”
46Awo ne mbuuza malayika nti: ‘‘Omuvubuka oyo ye ani abatikkira engule ku mitwe gyabwe era abawa amatabi g'enkindu?”
47Malayika n'addamu nti: ‘‘Oyo ye mwana wa Katonda, abantu abo gwe bakkiriza nga bakyali balamu ku nsi.” Awo ne ntandika okutendereza abo abeesimbawo n'obuzira ku lwa Mukama. 48Awo malayika n'aŋŋamba nti: ‘‘Genda otegeeze abantu bange byonna by'olabye, Mukama by'akola, ebikulu era ebyewuunyisa.”
OKULABIKIRWA OKUSOOKA

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 2: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in