YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 16

16
1Zikusanze ggwe Babilooni naawe Asiya! Zikusanze ggwe Misiri naawe Siriya! 2Mwambale ebikutiya n'engoye z'ebyoya by'embuzi. Mukaabe mukungubagire abaana bammwe, kubanga ekiseera kyammwe eky'okuzikirizibwa kiri kumpi. 3Mbasindikira olutalo, era tewali anaaluziyiza. 4Mbasindikira omuliro era tewali anaaguzikiza. 5Mbasindikira akabi era tewali anaakaziyiza kujja. 6Waliwo ayinza okugoba empologoma ng'erumwa enjala mu kibira, oba okuzikiza omuliro ogwaka mu bisubi ebikalu, 7wadde okuziyiza akasaale akalasiddwa omusajja ow'amaanyi? 8Mukama Katonda bw'asindika akabi, ani ayinza okukaziyiza? 9Ani ayinza okuzikiza omuliro oguva mu busungu bwe? 10Eggulu bwe limyansa, ani atatya? Ate bwe libwatuka, ani atakankana? 11Mukama bw'akangisa, ani atagwa wansi mu maaso ge? 12Ensi n'emisingi gyayo bikankana, obuziba bw'ennyanja n'ebigirimu byonna bitabanguka Mukama bw'alaga ekitiibwa kye eky'amaanyi, 13kubanga omukono gwe ogwa ddyo oguweta omutego gw'obusaale gwa maanyi. Obusaale bwe obusongovu tebuyinza kusubwa bw'abulasa mu kitundu kyonna eky'ensi. 14Amaze okusindika akabi eri ensi, era tekajja kugwa butaka. 15Omuliro gumaze okukoleezebwa, tegujja kuzikizibwa nga tegunnayokya misingi gya nsi. 16Ng'akasaale akalasiddwa ow'amaanyi bwe katadda nnyuma, n'akabi akasindikiddwa ku nsi tekakyadda mabega.
17Zinsanze! Ani alimponya mu biseera ebyo. Ddala zinsanze! 18Obuyinike bulijja, bangi ne basindogoma. Enjala erigwa, bangi ne bafa. Entalo ziribalukawo, ensi ez'amaanyi ne zikankana. Akabi kaligwa, abantu bonna ne bakwatibwa entiisa. Akabi ako bwe kaligwa abantu balikola batya? 19Enjala ne kawumpuli, n'obuyinike n'okubonaabona bye bisindikiddwa okubonereza abantu beenenye. 20Naye wadde ebyo byonna biri bityo, tebalikyuka kuva mu kibi kyabwe. Ekibonerezo kyabwe balikyerabira mangu.
21Ekiseera kirituuka, emmere n'eba ya mwero ku nsi, abantu ne balowooza nti emirembe n'ekyengera bituuse. Naye ate akabi kalisituka buto buli wantu, wabeewo entalo n'enjala n'obutabanguko. 22Abantu bangi ku nsi balifa enjala, ate abaliwona okufa enjala balittibwa mu lutalo. 23Abafu balisuulibwa ebweru ng'obusa, wabulewo akubagiza abalamu, kubanga ensi eriba tekyalimu bantu, n'ebibuga byayo nga bizikiriziddwa. 24Waliba tewakyaliwo alima nnimiro na kugisiga. 25Emiti giribala ebibala, naye ani alibinoga? 26Emizabbibu giryengera, naye ani aligisogolamu omwenge? Kubanga buli wantu waliba tewali asigaddewo. 27Omuntu alyegomba okulaba ku maaso ga muntu munne, wadde okuwulira eddoboozi lye, 28kubanga mu kibuga, kkumi bokka be balisigalawo, ate mu byalo wasigalewo babiri bokka abeekwese mu kibira oba mu mpuku.
29Ng'ebibala by'omuzayiti ebisatu oba ebina bwe bisigala ku muti mu kukungula, 30oba nga mu kukungula ennimiro y'emizabbibu, ebirimba ebimu bwe biwubira omunozi eyeetegereza, 31ne mu nnaku ezo abasatu oba abana bwe baliyitibwako abaliba baaza amayumba okutta buli muntu. 32Ensi erisigala matongo. Ennimiro zirizika, enguudo zonna n'amakubo birimeramu omuddo n'amaggwa, kubanga tewaliba bantu balitambuliramu. 33Abawala abakuze baliba mu kukaaba, kubanga tewaliba abawasa. Abakazi nabo balikungubaga, nga babuliddwa babbaabwe, abawala abo baliba mu nnaku, kubanga tewaliba abayamba. 34Abavubuka bonna balittibwa mu lutalo, n'abasajja, abafumbo baliba bafudde enjala.
Abantu ba Mukama beetegekere enkomerero
35Naye mmwe abaweereza ba Mukama muwulire bino. 36Buno bubaka bwa Mukama, mubutegere amatu era mubukkirize. 37Akabi kali kumpi, era tekajja kulwa. 38Omukazi ow'olubuto bw'aweza emyezi omwenda, ennaku ez'okuzaala ne zituuka, ayinza okulumirwa essaawa eziwerako. Naye omwana bw'atuusa akaseera okuzaalibwa, ava mu lubuto awatali kulwa. 39N'akabi bwe katyo bwe kaligwira ensi, awatali kulwa, ensi ekaabe olw'obulumi obugikutte ng'ebisa by'omukazi alumwa okuzaala.
40Mmwe abantu bange, muwulire bye mbagamba. Mweteekereteekere olutalo. Akabi bwe kalituuka, mube ng'abagwira ku nsi. 41Atunda adduke okuwonya obulamu, n'agula afiirwe by'aguze. 42Omusuubuzi aleme kulindirira kufuna magoba, azimba ennyumba aleme kutegeka kugisulamu. 43Asiga aleme kusuubira kukungula, n'eyalima emizabbibu taliginoga. 44Abawasa baleme kwesunga kuzaala baana, n'abatawasa babe nga bassemwandu. 45Okutegana kwonna kulifa bwereere. 46Ab'amawanga amalala be balikungula ebibala, banyage ebyobugagga, bamenye amayumba, batwale abaana nga basibe, kubanga abazaala abaana, bazaala ba kuba basibe na ba kufa njala. 47Aliba afunye ensimbi, amanye nti za kumunyagibwako. Abantu gye bakoma okufuna ebintu, era gye bakoma okubikozesa okunyiriza ekibuga n'amayumba gaabwe, n'okufa ku ndabika yaabwe, 48ne Mukama gy'alikoma okubasunguwalira olw'ebibi byabwe. Mukama bw'atyo bw'agamba. 49Ng'omukazi ow'empisa bw'anyooma malaaya, 50n'obutuukirivu bwe bulinyooma obwonoonyi ne bwe buliba nga busikiriza butya. Obutuukirivu bulyerula buli kibi mu nsi, era bulikirumiriza omusango amaaso n'amaaso, Oyo Omuzibizi bw'alijja. 51N'olwekyo temugoberera bwonoonyi, wadde ebikolwa byabwo, 52kubanga mu bbanga ttono, obwonoonyi buliggyibwawo mu nsi, obutukuvu bufuge mu ffe.
Katonda amanya byonna bye tukola
53Omwonoonyi tasaanye kugamba nti takolanga kibi, kubanga oyo agamba nti: ‘‘Siyonoonanga mu maaso ga Katonda oweekitiibwa”, aba yeekumira manda ga muliro ku mutwe gwe. 54Mukama amanya byonna abantu bye bakola. Amanya bye bateesa ne bye balowooza mu mitima gyabwe. 55Mukama yagamba nti: ‘‘Wabeewo ensi”, n'ebaawo. ‘‘Wabeewo eggulu” nalyo ne libaawo. 56Ekiragiro kye, kye kyateeka emmunyeenye mu bifo byazo, era amanyi omuwendo gwazo. 57Amanyi obuziba bw'ennyanja n'ebyobugagga byonna. 58Ekigambo kye, kye kyakugira ennyanja mu kifo kyayo, ne kiteeka ensi n'ebigirimu ku ngulu w'amazzi. 59Mukama yayanjuluza eggulu, n'alinyweza gy'aliwanise ku mazzi ng'akasolya. 60Yateeka ensulo z'amazzi mu ddungu, n'ennyanja ku ntikko z'ensozi empanvu, amazzi gakulukutirenga mu migga okunnyikiza ensi. 61Mukama yatonda abantu, buli omu n'amuwa omutima. Yabawa obulamu n'omwoyo, n'okutegeera, 62gwe mwoyo gwa Katonda Omuyinzawaabyonna, eyatonda byonna era amanya ebyama byonna era alaba ebikwekeddwa mu bifo ebyekusifu. 63Mmwe abantu bange aboonoona, ne mwagala okusiga ebibi byammwe, zibasanze, kubanga Mukama amanyi byonna bye muteesa, n'ebirowoozo eby'omu mitima gyammwe. 64Mukama alyetegereza buli kintu kye mwakola, n'abasalira omusango. 65Ku lunaku olwo, mulisoberwa, ebibi byammwe bwe biriragibwa mu lwatu, era ebibi bye mwakola bwe biribalumiriza. 66Mulikola mutya olwo? Mulikweka mutya Katonda ne bamalayika be ebibi byammwe. 67Katonda ye mulamuzi, mumutye. Mulekeeyo ebibi byammwe, mubyerabirire ddala, muleme kuddamu kubikola. Olwo Katonda alibawonya obuyinike bwonna.
Aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero
68Ekibinja ky'abantu ekinene kyetegese okubagwamu ng'ennimi z'omuliro, kibasaanyeewo. Balikwata abamu ku mmwe, babawalirize okulya ebitambiro by'abakafiiri. 69Bwe mulibagondera, balibasekerera babanyoome, babafeebye. 70Mu bifo bingi okumpi n'ebibuga, walibaawo okuyigganya abo abatya Mukama. 71Ababayigganya baliba ng'abalalu, banyage era bazikirize awatali kusaasira, bonna abatya Mukama. 72Balibagoba mu maka gaabwe, ne batwala ebyabwe byonna. 73Ekyo kye kiribeera ekiseera abalondemu bange okugezebwa babe nga zaabu atukuzibwa omuliro.#Laba ne Zek 13:9; 1 Peet 1:7
74Mukama agamba nti: ‘‘Mmwe abalondemu bange muwulire, ekiseera eky'okubonyaabonyezebwa kiri kumpi, naye nja kukibayisaamu. 75Muleme kutya, wadde okubuusabuusa. Nze Katonda wammwe, era nja kubakulembera.” 76Mukama agamba nti: ‘‘Abakuuma amateeka n'ebiragiro byange, temukkiriza bibi byammwe kubazitoowerera, wadde okubafuga. 77Abo abasibiddwa ebibi byabwe, abasaanikiddwa ebikolwa ebibi bye baakola, zibasanze, kubanga bali ng'omusiri ogubunduseemu ebisaka, ng'amaggwa gajjudde mu kkubo erigendayo, omuntu mw'atayinza kuyita. 78Eba esigadde kulekebwa ezikirizibwe omuliro.”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 16: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in