YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 1

1
1Kino kye kitabo ekyokubiri eky'omulanzi Ezera, mutabani wa Seraya era muzzukulu wa Azariya ne Yilukiya ne Sallumu, ne Zaddooki ne Ahituubu,#Laba ne Ezer 7:1-5; 1 Esd 8:1-2 2ne Ahiya ne Finehaasi, ne Eli ne Amariya, ne Azariya, ne Merayooti, ne Aruna, ne Wuzzi ne Boriti, ne Abiswa ne Finehaasi, ne Eleyazaari, 3ne Arooni ow'omu Kika kya Leevi.
Okugobwa kwa Yisirayeli
Nze Ezera bwe nali e Mediya mu busibe ku mirembe gya Arutazeruzeesi kabaka wa Perusiya, 4Mukama n'aŋŋamba nti: 5‘‘Genda ojjukize abantu bange n'abaana baabwe ebibi bye baakola ne bannyiiza, nabo babuulire bazzukulu baabwe.#Laba ne Yis 58:1 6Abantu bange boonoonye n'okusinga bajjajjaabwe, kubanga banneerabidde, ne bawaayo ebitambiro eri balubaale. 7Nze nabaggya e Misiri, gye baali bafugibwa obuddu. Naye bakoze ebinnyiiza, ne bagaana okuwuliriza bye mbalabulamu.
8‘‘Kaakati ggwe Ezera, weekuunyuuleko enviiri, oyite buli kabi konna kagwe ku bantu bano abajeemu, abagaana okugondera Amateeka gange. 9Ndituusa wa okugumiikiriza abantu bano be nkoledde ebirungi ebyenkanidde awo? 10Ku lwabwe naggyako bakabaka bangi, ne nsaanyaawo kabaka w'e Misiri wamu n'abakungu be n'eggye lye lyonna.#Laba ne Kuv 14:28 11Nazikiriza amawanga gonna agaabalwanyisa, ebuvanjuba ne nsaasaanya ab'omu bitundu by'e Tiiro ne Sidoni, ne nzita abalabe ba Yisirayeli bonna.
12‘‘Ezera, bategeeze nti Mukama agamba nti: 13Nze nabasomosa Ennyanja Emmyufu, ne mbayisa bulungi awataali makubo. Nabawa Musa okubakulembera, ne Arooni okuba kabona wammwe.#Laba ne Kuv 14:29 14Nabamulisa n'ekitangaala ekiva mu mpagi y'omuliro, ne nkolera mu mmwe ebyamagero. Naye munneerabidde.” Mukama bw'atyo bw'agamba.#Laba ne Kuv 13:21
15Mukama Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘‘Nabawa entiitiri ng'akabonero akalaga bwe mbalabirira, ne mbawa ensiisira mwe munaabeera obulungi. Naye mmwe kye mwakola kwe kwemulugunya.#Laba ne Kuv 16:13 16Ne bwe nasaanyaawo abalabe bammwe, temwasiima era temulekangayo kwemulugunya. 17Mwerabidde ebirungi bye nabakolera? Bwe mwalumirwa enjala n'ennyonta mu ddungu, mwankaabirira nti:#Laba ne Kubal 14:3 18‘Lwaki watuleeta mu ddungu lino okututtiramu? Waakiri twandisigadde mu Misiri nga tuli baddu, okusinga okujja okufiira wano.’ 19Nakwatibwa ekisa olw'okwemulugunya kwammwe, ne mbawa mannu, emmere ya bamalayika. 20Bwe mwalumwa ennyonta, nayasa olwazi ne lukulukuta amazzi mangi. Nabawa emiti okweggamamu omusana, muwone ebbugumu.#Laba ne Kubal 20:11; Mag 11:4 21Nabagabanyiza mu nsi engimu, ne ngigobamu Abakanaani, n'Abaperizi, n'Abafilistiya abaabalwanyisa mmwe. Nandibakoledde ki ekisinga ebyo?”
22Mukama Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘‘Bwe mwali mu ddungu okumpi n'omugga ogw'amazzi agakaawa, nga mulumwa ennyonta ne munvuma,#Laba ne Kuv 15:22-25 23saabasindikira muliro olw'ebivumo byammwe, wabula nasuula omuti mu mazzi ago, ne ngafuula malungi okunywa. 24Mmwe Abayisirayeli, mbakole ntya? Mmwe Abayudaaya, mugaanye okumpulira. Kale ka nzire eri amawanga amalala ge mba nfuula abantu bange. Balikwata amateeka gange. 25Nga bwe munjabulidde, nange nja kubaabulira. Mulinneegayirira ne sibakwatirwa kisa. 26Bwe mulinsaba, siribawuliriza. Mwanguyira ku kutemula abantu, engalo zammwe zibunye omusaayi gw'abo be musse. 27Temwabulidde nze, naye mweyabulidde mmwe mwennyini.”
Yisirayeli wa kusikirwa balala
28Mukama Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘‘Mbawooyawooyezza nga kitaawe w'abaana bw'awooyawooya batabani be, era nga nnyina w'abaana bw'awooyawooya bawala be, oba ng'omulezi w'abaana bw'awooyawooya abo b'alera. 29Saabagamba nti mube bantu bange, nange mbe Katonda wammwe? Mube baana bange, nange mbe kitammwe? 30Nabakuŋŋaanya ng'enkoko bw'ewambaatira obwana bwayo. Naye kaakano mbakole ntya? Nja kubagoba we ndi.#Laba ne Mat 23:37; Luk 13:34 31Ne bwe munampeerezanga ebitambiro, gye muli nnaakubangayo mabega. Ennaku zammwe ze mukuza, n'embaga zammwe ze mukola ng'omwezi gubonese, era n'okukomolebwa kwammwe, sikyabirabamu makulu. 32Nabatumira abaweereza bange abalanzi, ne mubatta era ne mutemaatemamu emirambo gyabwe. Ndibavunaana mmwe olw'okubatta abo.”
33Mukama Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘‘Essinzizo lyammwe lyabuliddwa. Ndibasaasaanya ng'ebisubi ebitwalibwa embuyaga. 34Abaana bammwe tebaliba na zzadde, kubanga baakola nga mmwe: mu kifo ky'okukola bye mbalagira, ne bakola bye nkyawa. 35Obutaka bwammwe ndibuwa eggwanga eriri okumpi okujja. Abaalyo balinzikiriza, newaakubadde tebannammanya. Banaakolanga bye ndagira, newaakubadde bo sibakoleranga byewuunyo.#Laba ne Bar 10:14-20 36Newaakubadde tebalabanga ku balanzi, naye banaagobereranga ebyo abalanzi bye baayigiriza edda. 37Nkakasa kye nsuubizza nti abantu abo ndibawa omukisa, abaana baabwe abato balisanyuka ne basekereza. Newaakubadde ng'abantu abo tebandabangako, naye mu mitima gyabwe balikkiriza ebigambo byange.
38‘‘Kaakano ggwe kitaabwe Ezera, tunuulira n'essanyu eggwanga eriva ebuvanjuba. 39Abakulembeze be ndiriwa be bano: Aburahamu, Yisaaka, Yakobo, 40Hoseya, Amosi, Mikka, Yoweeli, Obadiya, Yona, Nahumu, Habakuuku, Zefaniya, Haggayi, Zekariya ne Malaki, era ayitibwa Omubaka wa Mukama.”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 1: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in